bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Galatians 6
Galatians 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
1
Ab'oluganda, omuntu bw'abanga alina ekibi ky'akoze, mmwe ab'omwoyo mumuluŋŋamyenga mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
2
Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo.
3
Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, so nga si bwali, aba yeerimbalimba.
4
Naye buli muntu akeberenga omulimu gwe yekka, era n'okwenyumiriza kunaabanga mu ye yekka so si mu mulala.
5
Kubanga buli muntu alyetikka omugugu gwe yekka.
6
Naye oyo ayigirizibwa ekigambo agabanirenga wamu ebirungi byonna by'alina n'oyo amuyigiriza.
7
Temulimbibwanga, Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula.
8
Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo.
9
Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga bwe tutakoowa, ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise.
10
Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza.
11
Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n'omukono gwange nze.
12
Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga, balemenga okuyigganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo.
13
Kubanga era n'abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe.
14
Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula mu musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi.
15
Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa, si kye kikulu, wabula okufuuka ekitonde ekiggya.
16
N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda.
17
Okuva ne kaakano, omuntu yenna aleme okunteganya; kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.
18
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n'omwoyo gwammwe, ab'oluganda. Amiina.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
All chapters:
1
2
3
4
5
6