bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Galatians 3
Galatians 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Mmwe Abaggalatiya abasirusiru! Ani eyabaloga, so nga mwalagibwa mu lwatu Yesu Kristo eyakomererwa?
2
Kino kyokka kye njagala okubabuuza: Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
3
Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mukomekerereza mu mubiri?
4
Mwabonyaabonyezebwa ebyenkana awo bya bwereere? So nga ddala si bwereere.
5
Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
6
Mulabe Ibulayimu “yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”
7
Kale mutegeere nti abantu abakkiriza be baana ba Ibulayimu.
8
N'ekyawandiikibwa, kyalaba edda nti Katonda aliwa Ab'amawanga obutuukirivu lwa kukkiriza, Enjiri neesooka okubuulirwa Ibulayimu nti, “Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa.”
9
Bwe kityo n'abo abali mu kukkiriza baweebwa omukisa Ibulayimu gwe yaweebwa bwe yakkiriza.
10
Kubanga bonna abeesigama ku bikolwa by'amateeka, bali wansi wa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli ataatuukirizenga kukola byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka.”
11
Era kaakano kimanyiddwa nti tewali Katonda gwawa butuukirivu olw'okukuuma amateeka; kubanga, “ Oyo ali mu kukkiriza ye mutuukirivu, yaliba omulamu.”
12
Naye amateeka go tegeesigama ku kukkiriza, “naye nti Omuntu agakola anaabeeranga mulamu mu go.”
13
Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”
14
Kale kaakano mu Kristo Yesu omukisa gwa Ibulayimu gutuuka eri Ab'amawanga, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky'Omwoyo olw'okukkiriza.
15
Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okukakasibwa, tewali agiggyawo newakubadde agyongerako.
16
Kaakano ebyo ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omwana we. Naye tekyogera nti, “ N'eri abaana be nga bangi,” naye eri omu, “nga ye mwana we,” oyo ye Kristo.
17
Kino kye ntegeeza: amateeka, agajja nga wayiseewo emyaka bina mu asatu (430) tegaggyaawo ndagaano Katonda gye yali amaze okukakasa, okusobola okudibya ekyasuubizibwa.
18
Kale oba ng'obusika buva mu mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza.
19
Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gassibwawo lwa kwonoona, okutuusa nga omwana gwe basuubiza ekisuubizo azze, era gaalagirwa bamalayika okuyita mu mutabaganya.
20
Naye omutabaganya kitegeeza kusukka kw'omu, naye Katonda ali omu.
21
Kale olwo amateeka gakontana n'ebisuubizo bya Katonda? Si bwe kiri; kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka.
22
Naye ebyawandiikibwa biteeka ebintu byonna ku kibi, olwo ekyo ekyasuubizibwa olw'okukkiriza Kristo Yesu kiryoke kiweebwe abo abakkiriza.
23
Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa.
24
Bwe kityo amateeka gaatukuuma okutuusa Kristo bwe yajja, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza.
25
Naye kaakano ng'okukkiriza nga kumaze okujja, tetukyali wansi wa mukuumi.
26
Kubanga mu Kristo Yesu mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza.
27
Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo.
28
Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
29
Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6