bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Galatians 4
Galatians 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Ntegeeza kino nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna;
2
naye afugibwa abakuza n'abasigire okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira nga kituuse.
3
Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato, twali baddu nga tufugibwa emyoyo egy'omu nsi.
4
Naye ekiseera kye nnyini bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka,
5
alyoke abanunule abafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana.
6
Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe, ng'akaaba nti “Aba, Kitaffe.”
7
Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda.
8
Naye mu nnaku ziri bwe mwali temunnamanya Katonda, mwabanga baddu ba bitonde ebitali bakatonda.
9
Naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya okudda emabega okugoberera emyoyo eminafu egisabiriza, ate era mweteeke mu buddu bwagyo?
10
Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka.
11
Ntidde si kulwa nga okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere.
12
Mbeegayirira ab'oluganda, mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, temunsobyangako;
13
naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira Enjiri omulundi ogwolubereberye;
14
naye newakubadde nga nnabazitowerera olw'obulwadde bwange, temwannyooma oba okunsekerera, naye mwanzikiriza nga malayika wa Katonda, nga Kristo Yesu.
15
Kale okumatira okwo kwe mwafuna kwadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kyetaagisa, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze.
16
Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima?
17
Abo babakozesa bukozesa, naye si lwa bulungi; kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gyebali.
18
Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka.
19
Abaana bange abato, munnyongedde okubeera mu bulumi obungi, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe,
20
era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okukyusa eddoboozi lyange, kubanga mberalikiridde nnyo.
21
Mmumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka?
22
Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omulala wa wa ddembe.
23
Ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza.
24
Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab'obuddu, eyo ye Agali.
25
Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be.
26
Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe.
27
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Sanyuka, omugumba atazaala; Yanguwa oyogerere waggulu, ggwe atali mu bulumi bwa kuzaala, Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja.”
28
Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kisuubizo nga Isaaka bwe yali.
29
Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo bwe kiri ne kaakano.
30
Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti, “Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.”
31
Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye tuli baana ab'omukazi ow'eddembe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6