bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Song of Solomon 1
Song of Solomon 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 2 →
1
Oluyimba olusinga ennyimba, lwe luyimba lwa Sulemaani.
2
Annywegere n'okunywegera kw'akamwa ke. Kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi.
3
Amafuta go gawunya akaloosa; Erinnya lyo liriŋŋaanga amafuta agafukibwa; Abawala abatamanyi musajja kyebaava bakwagala.
4
Mpalula, tunaakugoberera mbiro. Kabaka annyingizizza mu bisenge bye. Tunaakusanyukira ne tujaguliza mu ggwe, Okwagala kwo tunaakutendereza okusinga omwenge; Bakwagala lwa nsonga.
5
Ndi muddugavu, naye mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi, Ng'eweema ez'e Kedali. Ng'entimbe z'omu lubiri lwa Sulemaani.
6
Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu. Kubanga omusana gunjokezza. Abaana ba mmange bansuguwalira, Banfuula omukuumi w'ensuku ez'emizabbibu; Naye olusuku lwange nze ssaalukuuma.
7
Mbuulira, ggwe emmeeme yange gw'eyagala, Gy'oliisiza ekisibo kyo, gy'okigalamiriza mu ttuntu; Kubanga nandibeeredde ki ng'omukazi ayambadde ekibikka, Awali ebisibo bya banno?
8
Oba nga tomanyi, ggwe asinga abakazi bonna obulungi, Fuluma okwate ekkubo ogoberere ebigere by'endiga zo, Oliisize abaana b'embuzi zo awali eweema ez'abasumba.
9
Nkugeerageeranya, ayi muganzi wange, Ku mbalaasi ez'amagaali ga Falaawo.
10
Amatama go ganyiridde n'emivumbo emirange, Ensingo yo nnungi n'embu ez'eby'obuyonjo.
11
Tunaakukolera emivumbo egya zaabu N'amapeesa aga ffeeza.
12
Kabaka bwe yali ng'atudde ku kitanda kye, Amafuta gange ag'omugavu ne gawunya akaloosa kaago.
13
Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli, Oguteekebwa wakati w'amabeere gange.
14
Muganzi wange ali gye ndi ng'ekisaaganda ky'ebimuli ebya kofera Mu nsuku ez'emizabbibu ez'e Engedi.
15
Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba.
16
Laba, oli mulungi, muganzi wange, weewaawo, osanyusa; Era ekitanda kyaffe kya malagala mato.
17
Emikiikiro gy'ennyumba yaffe mivule, N'emirabba gya nkanaga.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8