bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Song of Solomon 7
Song of Solomon 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 8 →
1
Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba.
2
Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, kye bataddemu omwenge ogutabuddwamu ebiguwoomesa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyetooloddwa amalanga.
3
Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo.
4
Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go galinga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu. Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko.
5
Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka asikirizibwa emivumbo gyazo ne gimusiba.
6
Ng'oli mulungi, mubalagavu, Ayi gwe njagala, olw'okusanyusa!
7
Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu.
8
N'ayogera nti N'alinnya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo; Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa;
9
Ebigambo by'omu kamwa ko biri ng'omwenge ogusinga okuwooma, Ogwo gwe mwenge ogusanidde okunywebwa muganzi wange, Nga guyita mu mimwa gye n'amannyo ge biryoke byenuguune.
10
Nze ndi wa muganzi wange, Naye yeegomba nze.
11
Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo.
12
Tugende mu nsuku z'emizabbibu ku makya; Tulabe omuzabbibu oba nga gumulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange.
13
Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ayi muganzi wange.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8