bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Song of Solomon 4
Song of Solomon 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 5 →
1
Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi! Amaaso go mayiba emabega w'olugoye lwe Weebisseeko. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamidde ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi.
2
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezzadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu.
3
Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaavu, N'akamwa ko kalungi, Amatama go galinga ekitundu ky'ekkomamawanga; Emabega w'olugoye lw'obisse ku maaso.
4
Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu eby'okulwanyisa, Omuwanikibwa engabo olukumi (1,000), Engabo zonna ez'abasajja ab'amaanyi.
5
Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga.
6
Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, Nja kugenda mbeere ku lusozi olwa mooli. Ne ku kasozi ak'omugavu.
7
Oli mulungi wenna, gwe njagala; So ku ggwe tekuli bbala.
8
Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange, Tugende ffembi okuva ku Lebanooni. Lengera ng'oyima ku ntikko ya Amana, Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni, Lengera ng'oyima awali empuku ey'empologoma, Ne ku nsozi ez'engo.
9
Osanyusizza omutima gwange, omwagalwa, mugole wange; Osanyusizza omutima gwange, n'eriiso lyo erimu, N'omukuufu ogumu ogw'omu bulago bwo.
10
Okwagala kwo nga kulungi, omwagalwa, mugole wange! Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi.
11
Emimwa gyo, ayi mugole wange, giwomerera ng'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'akawoowo ak'ebyambalo byo kali nga ng'akawoowo aka Lebanooni.
12
Omwagalwa, mugole wange, lwe lusuku olwasibibwa; Lwe luzzi olwasibibwa, ye nsulo eyateekebwako akabonero.
13
Ebimera by'olusuku lwa mikomamawanga, olulina ebibala eby'omuwendo omungi; Kofera n'emiti egy'omugavu,
14
Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akaloosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi.
15
Ggwe nsulo y'ennimiro, Oluzzi olw'amazzi amalamu, Era emigga egikulukuta egiva ku Lebanooni.
16
Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva e bukiikakkono; nammwe mujje, ez'obukiikaddyo. Mukuntire ku nnimiro yange, eby'akaloosa ebyamu bikulukute. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye; Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8