bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Song of Solomon 8
Song of Solomon 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
1
Singa nno obadde mwannyinaze, Eyayonka amabeere ga mmange! Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde; Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye.
2
Nnandikuleese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, N'onjigiririza eyo okwagala; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, ne ku mubisi omusogole mu makkomamawanga.
3
Omukono gwo ogwa kkono gwandibadde wansi w'omutwe gwange, N'omukono gwe ogwa ddyo gwandimpambaatidde.
4
Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.
5
Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzuukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala.
6
Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe, Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okw'ennimi ezeememula.
7
Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta, Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Afuna kunyoomebwa kwoka.
8
Tulina mwannyinaffe omuto, Era tannamera bbeere. Tulimukola tutya mwannyinaffe Ku lunaku lwe balimwogererezaako?
9
Mwannyinaffe oyo bwaba nga ekisenge, Twalimuzimbyeko ekigo kya ffeeza, Era singa yali nga luggi, Twalimubisseeko embaawo ez'emivule.
10
Ndi bbugwe, n'amabeere gange gali ng'eminaala gyakwo; Ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng'omuntu aleeta emirembe.
11
Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni; Olusuku olwo nnalupangisa abalimi; Buli muntu yasalirwa okusasula ebitundu ebya ffeeza lukumi (1,000); olw'ebibala byamu.
12
Olusuku olw'emizabbibu lwange, olwange, lunaaba mu maaso gange; Ggwe, Sulemaani, onoosigala n'olukumi lwo (1,000), N'abo abakuuma ebibala byamu banasigaza bibiri (200).
13
Ggwe abeera mu nnimiro, Banno bawuliriza eddoboozi lyo, Nange kandiwulireko.
14
Yanguwa, muganzi wange, Obeere ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi ez'eby'akaloosa.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8