bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Song of Solomon 5
Song of Solomon 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 6 →
1
Nzize mu nnimiro yange, omwagalwa, mugole wange; Nnoze mooli yange n'eby'akaloosa byange; Ndidde ebisenge byange eby'enjuki n'omubisi gwange; Nnywedde omwenge gwange n'amata gange. Mulye, mmwe ab'omukwano; Munywe, weewaawo, mukkute, mmwe baganzi bange.
2
Nnali neebase, naye omutima gwange nga gulaba: Ne mpulira eddoboozi lya muganzi wange, nga akonkona ku luggi ng'ayogera nti: Nzigulira, omwagalwa, gwe njagala, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala: Kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, Emivumbo gy'enviiri zange gitobye amatondo g'omusulo ag'ekiro.
3
Nnyambudde ekizibawo kyange; nnaakyambala ntya? Nnaabye ebigere, nnaabyonoona ntya?
4
Muganzi wange n'ayingiza omukono gwe awali ekituli eky'omu luggi, Omwoyo ne gunnuma ku lulwe.
5
Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange; Emikono gyange ne gitonnya mooli, N'engalo zange nga zitonnya mooli ekulukuta, Ku mikonda egy'ekisiba eky'oluggi.
6
Ne nzigulirawo muganzi wange; Naye muganzi wange yali nga yagenze dda, ng'avuddewo. Bw'ayogedde omwoyo gwange ne guntyemuka, Ne mmunoonya, naye ne ssiyinza kumulaba; Ne mmuyita, naye n'atanziramu.
7
Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba, Ne bankuba ne banfumita; Abakuumi babbugwe ne banziggyako omunagiro gwange.
8
Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, bwe munaalaba muganzi wange, Mumubuulirenga ng'okwagala kugenda kunzita.
9
Muganzi wo kye ki okusinga omulala, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo kye okusinga omuganzi omulala, N'okutulayiza n'otulayiza bw'otyo?
10
Muganzi wange mulungi era mumyufu Ali omu yekka mu bantu omutwalo.
11
Omutwe gwe gulinga zaabu ennungi ennyo nnyini, Emivumbo gy'enviiri ze gya masadde era middugavu nga nnamuŋŋoona.
12
Amaaso ge gali ng'amayiba ku mabbali g'obugga obw'amazzi; Agaanaazibwa n'amata era agaateekebwamu obulungi.
13
Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiddo egy'akaloosa, ng'ebifunvu ebimerako enva eziwunya obulungi, Emimwa gye giri ng'amalanga, nga gitonnya mooli ekulukuta.
14
Emikono gye giri ng'empeta eza zaabu eziteekebwamu berulo, Omubiri gwe guli ng'omulimu ogw'amasanga ogubikkiddwako safiro.
15
Amagulu ge gali ng'empagi ez'amayinja amanyirivu ezisimbibwa ku binnya ebya zaabu ennungi: Enfaanana ye eringa Lebanooni, ewooma nnyo nnyini ng'emivule.
16
Akamwa ke kalungi nnyo nnyini, weewaawo, yenna wa kwagalwa. Muganzi wange bw'ali bw'atyo, era bw'ali bw'atyo mukwano gwange, Mmwe abawala ba Yerusaalemi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8