bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Song of Solomon 6
Song of Solomon 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 7 →
1
Muganzi wo agenze wa, Ggwe akira abakazi bonna obulungi? Muganzi wo yeekyusiririza wa, Tumunoonyeze wamu naawe?
2
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu nnimiro omuli ebimera egy'akaloosa, Okulundira mu nnimiro eggana lye, n'okunogayo amalanga.
3
Nze ndi wa muganzi wange, ne muganzi wange wange: Aliisizza ekisibo kye mu malanga.
4
Oli mulungi, ayi gwe njagala, oli mulungi ng'ekibuga Tiruza, oli mubaalagavu nga Yerusaalemi, Wa ntiisa ng'eggye eririna ebendera.
5
Nziggyaako amaso go, Kubanga gampangudde. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamira ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi.
6
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga enkazi, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezzadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwako n'emu.
7
Amatama go galabika bulungi ng'ekkomamawanga erisaliddwamu awabiri; Emabega w'olugoye lw'obisse ku maaso go.
8
Waliwo bakabaka abakazi nkaaga (60), n'abazaana kinaana (80), N'abawala abatamanyi musajja abatabalika.
9
Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ali omu yekka; Mwana wa nnyina omu yekka; Mulonde era nnyina gwasinga okwagala. Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa; Bakabaka abakazi n'abazaana baamulaba ne bamutendereza.
10
Ani oyo atunula ng'emmambya, Omulungi ng'omwezi, Atangalijja ng'enjuba, Ow'entiisa ng'eggye eririna ebendera?
11
N'aserengeta mu nnimiro ey'ebinyeebwa eby'oku muti, Okulaba ebisimbe ebibisi ebikulira mu kiwonvu, Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza.
12
Nga sinnamanya emmeeme yange yajjula essanyu; Nenfaanana ng'omuntu ali mu ggaali lya bakungu.
13
Komawo, komawo, ggwe Omusulamu; Komawo, komawo, tukulabe. Kiki ekibaagaza okuntunuulira nze omuwala w'e Sulamu, Ng'amazina wakati we bibinja ebibiri?
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8