bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Job 12
Job 12
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 13 →
1
Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2
Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini, Era amagezi galifiira wamu nammwe.
3
Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka; Mmwe temunsinga: Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng'ebyo?
4
Ninga omuntu asekererwa eri munne, Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu: Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa.
5
Mu kulowooza kw'oyo eyessa mulimu okunyooma akabi; Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n'ekigere kyabwe.
6
Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa, N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe; Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe.
7
Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza; N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira:
8
Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza; N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola.
9
Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?
10
Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo, N'omukka gw'abantu bonna.
11
Okutu tekukema bigambo, Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago?
12
Amagezi gaba n'abasajja abakadde, N'okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi.
13
Eri ye eriyo amagezi n'amaanyi; yalina okuteesa ebigambo n'okutegeera.
14
Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate; Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo.
15
Laba, aziyiza amazzi ne gakala; Nate agasindika ne gavuunika ensi.
16
Eri ye eriyo amaanyi n'okukolera ddala; Alimbibwa n'alimba babe.
17
Atwala abateesa b'ebigambo nga banyagiddwa, N'abalamuzi abafuula abasirusiru.
18
Asumulula olujegere lwa bakabaka, Era asiba ekiwato kyabwe n'olukoba.
19
Atwala bakabona nga banyagiddwa, Era amegga ab'amaanyi.
20
Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe, N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe.
21
Afuka okunyoomebwa ku balangira, Era asumulula olukoba olw'ab'amaanyi.
22
Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza, Era ayerula ekisiikirize eky'okufa.
23
Ayaza amawanga, era agazikiriza: Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo.
24
Abakulu b'abantu ab'omu nsi abaggyako omwoyo, Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo.
25
Bawammantira mu kizikiza awatali musana, Era abatagassa ng'omutamiivu.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42