bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Job 19
Job 19
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
1
Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2
Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange, Ne mummeayamenya n'ebigambo?
3
Mwakanvumira emirundi kkumi: Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera.
4
N'okukyama newakubadde nga nkyamye, Okukyama kwange kubeera nange mwene.
5
Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze, Ne mundeetako ekivume kyange:
6
Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange, Era anzingizizza n'ekitimba kye.
7
Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa: Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
8
Azibye ekkubo lyange n'okuyinza ne ssiyinza kuyitamu, Era atadde ekizikiza mu makubo gange.
9
Anziyeeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange.
10
Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti.
11
Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampita omu ku balabe be gy'ali.
12
Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze, Ne basiisira okuzingiza eweema yange.
13
Baganda bange abantadde wala, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi:
14
Ab'ekika kyange baweddewo, Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde.
15
Abo ababeera mu nnyumba yange n'abazaana bange bampita mugenyi: Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe.
16
Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Newakubadde nga mmwegayirira n'akamwa kange.
17
Omukka gwange mukazi wange tagumanyi, N'okwegayirira kwange abaana b'enda ya mmange tebakumanyi:
18
Era n'abaana abato bannyooma; Bwe nnyimuka banjogerako obubi.
19
Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa: N'abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange.
20
Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange, Era mponye n'eddiba ly'okumanayo gange.
21
Munsaasire, munsaasire, si mmwe mikwano gyange; Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko.
22
Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda, So n'omubiri gwange tegubamala?
23
Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24
Singa byoleddwa ku lwazi N'ekkalaamu ey'ekyuma n'ekisasi okumala emirembe gyonna!
25
Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu, Era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi:
26
Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda:
27
Gwe ndiraba nze mwene, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeeme yange emaliddwawo munda yange.
28
Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so! Kubanga ekikolo ky'ekigambo kirabise mu nze;
29
Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw'ekitala. Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42