bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Job 40
Job 40
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 41 →
1
Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti
2
Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda akiwoze.
3
Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti
4
Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.
5
Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu; Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate.
6
Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
7
Weesibe nno ekimyu ng'omusajja: Naakubuuza, naawe onziremu.
8
N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu?
9
Oba olina omukono nga Katonda? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye?
10
Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa; Yambala ekitiibwa n'obukulu.
11
Fuka obusungu bwo okusukkiridde: Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze.
12
Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.
13
Bakise wamu mu nfuufu; Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa.
14
Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola.
15
Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente.
16
Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo.
17
Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu.
18
Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.
19
Ye ekulira amakubo ga Katonda: Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye.
20
Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya; Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira.
21
Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi.
22
Ebisiikirize by'emiti bigibikkako; Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola.
23
Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana: Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24
Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula, Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika?
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 41 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42