bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Job 2
Job 2
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 3 →
1
Awo nate olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama.
2
Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo wano ne wali.
3
Mukama n'agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wasaakiriza gy'ali, okumuzikiririza obwereere.
4
Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.
5
Naye kaakano golola omukono gwo, okome ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go.
6
Mukama n'agamba Setaani nti Laba, ali mu mukono gwo; kyokka mulekere obulamu bwe.
7
Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe.
8
N'addiranga olugyo okweyaguza; n'atuulanga mu vvu.
9
Awo mukazi we n'amugamba nti Okyanyweza obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe.
10
Naye n'amugamba nti Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! Tunaaweebwanga ebirungi mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibi? mu ebyo byonna Yobu teyayonoona na mimwa gye.
11
Awo mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne bajja buli muntu ng'ava mu kifo kye ye; Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi: ne balagaana wamu okujja okumukaabirako n'okumukubagiza.
12
Awo bwe baayimusa amaaso gaabwe, nga bakyali wala ne batamumanya ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba; ne bayuza buli muntu omunagiro gwe, ne bafuumuulira enfuufu ku mitwe gyabwe eri ggulu.
13
Awo ne batuula wamu naye ku ttaka ne bamala ennaku musanvu emisana n'ekiro, ne wataba amugamba kigambo: kubanga baalaba ennaku ze nga nnyingi nnyo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42