bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Job 29
Job 29
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 30 →
1
Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti
2
Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita, Nga bwe nnali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu;
3
Ettabaaza ye lwe yayakiranga omutwe gwange, N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza;
4
Nga bwe nnali ennaku zange nga zengedde, Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange;
5
Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga bakyanneetoolodde;
6
Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo, N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta!
7
Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga, Bwe nnategekanga entebe yange mu luguudo,
8
Abalenzi bandabanga ne beekweka, Abakadde ne bayimukanga ne bayimirira;
9
Abakungu ne balekanga okwogera, Ne bateeka omukono gwabwe kamwa kaabwe;
10
Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika, Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe.
11
Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza; Era eriiso bwe lyandabanga ne liba mujulirwa wange:
12
Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba, Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba.
13
Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu.
14
Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako: Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule.
15
Nabanga amaaso eri omuzibe, Era nabanga ebigere eri awenyera.
16
Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya.
17
Era namenyanga atali mutuukirivu oluba, Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge,
18
Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange, Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu:
19
Emmizi gyange giranze eri amazzi, N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde:
20
Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi, N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange.
21
Nze abantu bampulirizanga ne balinda, Ne basirikira okuteesa kwange.
22
Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate; Okwogera kwange ne kubagwako.
23
Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba; Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo.
24
Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza; N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula.
25
Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu, Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42