bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Job 9
Job 9
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
1
Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2
Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda?
3
Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi.
4
Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa?
5
Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe.
6
Anyeenya ensi okuva mu kifo kyayo, Empagi zaayo ne zikankana.
7
Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye.
8
Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja.
9
Akola Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo.
10
Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika.
11
Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera.
12
Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki?
13
Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we.
14
Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye?
15
Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange.
16
Singa nkoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange.
17
Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere.
18
Taŋŋanyenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze.
19
Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani ananteekerawo ekiseera?
20
Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuukirira, kanantegeeza okuba omukyamu.
21
Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange.
22
Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi.
23
Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi.
24
Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi: Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani?
25
Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba.
26
Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo.
27
Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo:
28
Awo nga ntidde obuyinike bwange bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango.
29
Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere?
30
Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya;
31
Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa.
32
Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango.
33
Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi.
34
Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga:
35
Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42