bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Micah 1
Micah 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 2 →
1
Mu mirembe gya Yotamu ne Ahazi ne Heezeekiya, bassekabaka ba Buyudaaya, Mukama yawa Mikka ow'omu kibuga ky'e Moreseti obubaka buno, obufa ku Samariya ne ku Yerusaalemu. 28:1–32:33
2
Muwulire kino mmwe abali mu mawanga gonna. Ggwe ensi ne byonna ebikuliko, mutege amatu,
3
Mukama aliva mu kifo kye ekitukuvu, n'akka, n'atambulira ku ntikko z'ensozi.
4
Ensozi zirisaanuukira wansi we, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro. Zirikuluggukira mu biwonvu, ng'amazzi agava ku kasozi.
5
Ebyo byonna biribaawo, kubanga Abayisirayeli bakoze ebibi, ne bajeemera Katonda. Ani avunaanibwa olw'ebibi bya Yisirayeli? Si Samariya ekibuga kyayo ekikulu? Ani avunaanibwa olw'ekibi kya Buyudaaya? Si Yerusaalemu?
6
Kale Mukama agamba nti: “Ndifuula Samariya ekigulumu mu ttale, ekifo eky'okusimbamu emizabbibu. Ndisuula amayinja gaakyo mu kiwonvu, era ndisendawo emisingi gyakyo.
7
Ebifaananyi byonna bye kisinza, birimenyebwamenyebwa ne bizikirizibwa; era ebintu byonna bye kyafuna, birisaanyizibwawo omuliro. Kubanga kyabifuna okuva mu mpeera eweebwa bamalaaya baakyo. Kale biritwalibwa okukozesebwa awalala ng'empeera eweebwa bamalaaya.”
8
Awo Mikka n'agamba nti: “Olw'ekyo nditema emiranga, ne nkuba ebiwoobe! Ndyeyambulamu engoye n'engatto, ne ntambula nga ndi bwereere. Ndiwowoggana ng'ebibe, ne nkaaba nga mmaaya,
9
kubanga ebiwundu bya Samariya, tebiyinza kuwonyezebwa. Ate ne Buyudaaya anaatera okubonaabona mu ngeri ye emu. Okubonaabona kutuuse ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemu, omuli abantu bange!”
10
Okubonaabona kwaffe temukubuulirako balabe baffe ab'omu Gaati. Temukaaba maziga n'akatono. Mmwe ab'e Beeti Leyafura, mwekulukuunye mu nfuufu!
11
Mmwe ab'omu Safiri, mukwate ekkubo mugende mu buwaŋŋanguse nga temwambadde era nga muswadde. Mmwe abatuuze b'omu Zaanani, muleme kuva mu kibuga kyammwe. Bwe muliwulira ebiwoobe mu Betezeeli, mulimanya nti eyo teriiyo buddukiro.
12
Abatuuze b'e Maroti beeraliikiridde, nga balindirira obuyambi, kubanga Mukama aleese akabi akatuuse okumpi ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemu.
13
Mmwe abatuuze b'e Lakisi, musibe embalaasi ku magaali: mwakoppa ebibi bya Yisirayeli ne muleetera Yerusaalemu okwonoona.
14
Kale musiibule ekibuga ky'e Moreseti Gaati. Bakabaka ba Yisirayeli tebalifuna buyambi mu kibuga ky'e Akuzibu.
15
Mmwe abatuuze b'e Maresa, Mukama alibawaayo eri abalabe, abaliwamba ekibuga kyammwe. Abeekitiibwa mu Yisirayeli baligenda ne beekweka mu mpuku y'e Adullamu.
16
Mwemweko enviiri okukungubagira abaana bammwe ababasanyusa. Mwefuule ba biwalaata ng'ensega, kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne bawaŋŋangusibwa.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7