bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Micah 5
Micah 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 6 →
1
Abantu b'omu Yerusaalemu, mukuŋŋaanye eggye lyammwe. Batuzingizizza ffe! Balumbye omufuzi wa Yisirayeli!
2
Mukama agamba nti: “Ggwe Betilehemu Efurata, akamu ku bubuga obusingayo obutono mu Buyudaaya, mu ggwe mwe ndiggya omufuzi wa Yisirayeli, asibuka mu lunyiriri olw'emirembe egy'edda ennyo.”
3
Mukama kyaliva abawaayo okutuusa oyo alumwa okuzaala lw'alizaala. Olwo abantu b'ensi ye abaliba basigaddewo ne bakomawo eri Bayisirayeli bannaabwe.
4
Oyo bw'alijja, alifuga abantu be mu buyinza bwa Mukama n'obukulu bw'erinnya lya Mukama, Katonda we. Abantu be balibeera mu ddembe, kubanga aliba mukulu mu nsi yonna,
5
era alireeta emirembe. Abassiriya bwe balizinda ensi yaffe, ne basaatuukira mu nnyumba zaffe, tulisindika abakulembeze baffe musanvu n'abakungu baffe munaana, ne babalwanyisa.
6
Balirwana olutalo ne bawangula Assiriya, ensi ya Nimuroodi. Alituwonya Abassiriya, abaliba babuuse ensalo zaffe, ne bayingira ensi yaffe.
7
Abayisirayeli abaliwonawo, baliba wakati mu mawanga amangi ng'omusulo oguva eri Mukama, era ng'enkuba etonnya ku bimera ebirabirirwa Mukama, ebitalabirirwa bantu.
8
Abayisirayeli abaliwonawo baliba wakati mu mawanga amangi ng'empologoma eri wakati mu nsolo ez'omu ttale, oba mu magana g'endiga: z'egwamu n'ezitaagulataagula, ne wataba ayinza kuziwonya.
9
Muliwangula abalabe bammwe era mulibazikiriza bonna.
10
Mukama agamba nti: “Mu kiseera ekyo, ndibaggyako embalaasi zammwe, era ndisanyaawo amagaali gammwe.
11
Ndizikiriza ebibuga ebiri mu nsi yammwe, era ndimenya ebigo byammwe byonna.
12
Ndizikiriza eby'obulogo byammwe, temuliddayo kuba na balaguzi.
13
Ndiggyawo ebifaananyi byammwe, n'empagi zammwe, ebyo mmwe mmwennyini bye mwekolera, temuliddayo kubisinza.
14
Era ndisimbula mu nsi yammwe ebifaananyi bya lubaale Asera, era ndizikiriza ebibuga byammwe.
15
Mu busungu n'ekiruyi ndiwoolera eggwanga ku mawanga agatampulira.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7