bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Micah 3
Micah 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 4 →
1
Awo ne ŋŋamba nti: “Muwulire mmwe abafuzi ba Yisirayeli! Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya?
2
Naye mukyawa ebirungi, ne mwagala ebibi. Mubaagako abantu bange eddiba, ne mubaggyako ennyama ku magumba!
3
Mulya abantu bange! Mubabaagako eddiba, ne mumenyaamenya amagumba gaabwe, ne mubasalaasala ng'ennyama ey'okufumba mu ntamu!
4
Ekiseera kirituuka ne mukaabirira Mukama, kyokka talibaddamu. Taliwuliriza kusaba kwammwe, kubanga mwakola ebikolwa bibi.”
5
Abalanzi bawubisa abantu bange nga basuubiza emirembe eri buli abawa ekyokulya, ne balangirira olutalo ku abo abatabawadde mmere. Abalanzi abo Mukama abagamba nti:
6
“Olw'ekyo balanzi mmwe, enjuba eneetera okugwa nga mutunula, obudde obw'emisana bubaddugalire, mulyoke mubeere mu kiro nga temukyalabikirwa; mube mu kizikiza nga temukyalanga.”
7
Abalanzi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala. Bonna balibikka ku mimwa gyabwe, kubanga Katonda talibaanukula.
8
Naye nze, Mukama anzijuza omwoyo gwe era n'amaanyi, n'amazima era n'obuvumu, okutegeeza Abayisirayeli ebibi byabwe nga bwe biri.
9
Muntegere amatu mmwe abakulira ennyumba ya Yakobo, abafuzi ba Yisirayeli, mmwe abakyawa amazima, ekirungi ne mukifuula ekibi!
10
Mmwe abazimba Siyooni ku musingi ogw'obutemu, Yerusaalemu ku bwonoonyi.
11
Abakulu baakyo balamula lwa nguzi. Bakabona bayigiriza, n'abalanzi mu kyo balanga bafune ensimbi. Ng'olwo beeyinula Mukama nga bagamba nti: “Mukama tali wakati mu ffe? Tetulituukibwako kabi!”
12
Kale olw'okubeera mmwe Olusozi Siyooni lulirimibwa ng'ennimiro. Ekibuga Yerusaalemu kirifuuka ntuumu ya bisasiro. Akasozi okuli Essinzizo kalimerako ekibira.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7