bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Micah 2
Micah 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 3 →
1
Ziribasanga abo abagalamira ku bitanda byabwe, ne bakeesa obudde nga bateesa okukola ebibi, era ne babikola ng'obudde bukedde, kubanga basobola okubikola.
2
Bwe beegomba ennimiro, ezo nga bazinyaga; ka zibeere nnyumba nazo nga batwala. Tebatya na nnyinimu, wadde bye yasikira.
3
Mukama kyava agamba nti: “Ntegeka okubakolako mmwe akabi ke mutaliyinza kwewonya. Muliba temukyatambula nga mweyagala, kubanga ebiseera ebyo biriba bibi.
4
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, balibafuula mmwe olugero olw'abo abatuukibwako akabi, era balibayeeya mu luyimba olw'okukungubaga nti: ‘Tunyagiddwako buli kintu, Mukama atuggyeeko ensi yaffe n'agigabira abajeemu.’ ”
5
Kale ekiseera bwe kirituuka ensi eddizibwe abantu ba Mukama, mmwe tewaliba abapimira mugabo.
6
Waliwo abalangirira nga bagamba nti: “Totulagula! Omuntu tasaana kulanga ebyo! Tetugenda kuswazibwa.
7
Aba Yakobo bayinza okukolimirwa? Mukama takyagumiikiriza? Ayinza okukola ebiri ng'ebyo? Ebigambo bye tebisanyusa abo abakolera ku mazima?”
8
Mukama n'addamu nti: “Naye abantu bange, mufuuse ng'abalabe. Abo abatayagala kulwana, mubanyagako ebyambalo byabwe nga babayitako awatali kye beeraliikirira.
9
Abakazi b'abantu bange mubagoba mu maka gaabwe agabasanyusa. Abaana baabwe abato ekitiibwa kye nabawa, mukibaggyako ennaku zonna.
10
Musituke mugende, kubanga wano tewakyaliwo kiwummulo. Ebibi byammwe bizikirizza ekifo kino.
11
Abantu bano gwe baagala, ye mulanzi abalimba ng'agamba nti: ‘Nnanga nti mulifuna omwenge n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza.’
12
Naye ndibakuŋŋaanya mmwe mwenna Abayisirayeli abalisigalawo, ne mbaleeta wamu ng'endiga ezikomyewo mu kisibo. Ensi yammwe erijjula abantu ng'eddundiro erijjudde endiga. Balireekaana olw'obungi bwabwe”
13
Abatemera ekkubo alibakulemberamu. Balimenya oluggi olwa wankaaki ne bayitawo. Kabaka waabwe, Mukama yennyini, alibakulemberamu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7