bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Micah 7
Micah 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
1
Nga zinsanze nze! Ndi ng'omuyala atasanga kibala kisigadde ku muti, wadde ekirimba kisigadde ku muzabbibu. Ebirimba by'emizabbibu byonna n'emitiini gye njagala egisooka okwengera, binogeddwa, tekukyali kya kulya.
2
Tewakyali mwesigwa mu nsi, tewakyali muntu mwesimbu. Buli muntu ateesa atemule, buli omu atega munne ekitimba.
3
Bonna bamanyirivu mu kukola ebibi. Abafuzi n'abalamuzi baagala kulya nguzi. Omukungu bw'ababuulira ku kibi ky'ateesa okukola, nga nabo bateesa wamu naye.
4
N'abo abasinga obulungi bo bali nga katazzamiti; abo abasingamu obwesimbu bali ng'olukomera lw'amaggwa. Kaakano ekiseera kituuse babonerezebwe nga bwe baalabulibwa abalanzi baabwe. Kaakano basobeddwa.
5
Temwesiga muliraanwa wammwe, wadde ow'omukwano. Mwegendereze bye mwogera ne bwe muba nga mwogera ne bakazi bammwe.
6
Kubanga omwana ow'obulenzi anyooma kitaawe, ow'obuwala akikinala ku nnyina. Muka mwana ayombesa nnyazaala we. Abalabe b'omuntu baba ba mu nnyumba ye.
7
Naye nze nnaatunuuliranga Mukama, nnaalindiriranga Katonda andokole. Katonda wange anampuliranga.
8
Ggwe omulabe wange osanyukira bwereere nga nfunye ebizibu. Ne bwe ngwa, nnaayimuka. Ne bwe tuba mu kizikiza, Mukama anampa ekitangaala.
9
Nnaagumikiriza obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde. Oluvannyuma alinnwanirira, n'asalawo nti nze mutuufu. Alindeeta mu kitangaala, ne ndaba nga bw'ali omwenkanya.
10
Olwo nno omulabe wange eyaŋŋambanga nti: “Mukama Katonda wo ali ludda wa?” Aliraba ekyo n'aswala. Ndisanyuka okulaba bw'alinnyirirwa ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
11
Ggwe Yerusaalemu, ekiseera eky'okuzimba ebisenge byo, kijja. Mu kiseera ekyo, ensalo zo zirigayizibwa.
12
Abantu bo balidda gy'oli, nga bava mu Assiriya ne mu bibuga bya Misiri, mu bitundu by'Omugga Ewufuraate, ne ku nnyanja, ne ku nsozi ez'ewala.
13
Naye ensi erifuuka ddungu olw'ebikolwa ebibi eby'abo abagibeeramu.
14
Mukama, abantu bo be weeroboza, balabirire ng'omusumba bw'alabirira endiga ze. Bali bokka mu kibira, nga beetooloddwa ensi engimu. Baleke baliirenga mu Basani ne mu Gileyaadi nga mu biseera eby'edda.
15
Mukama agamba nti: “Ndiraga abantu ebyamagero, nga bwe nakola nga muva mu nsi ey'e Misiri.”
16
Ab'omu mawanga baliraba bino, ne batekemuka, newaakubadde nga ba maanyi. Balikwata ku mimwa, era baliziba amatu gaabwe nga beewuunya.
17
Balyewalula mu nfuufu ng'emisota, ne bava gye beekwese, ne bajja eri Mukama, Katonda waffe, nga batidde nga bakankana.
18
Teri Katonda mulala ali nga ggwe, ayi Mukama asonyiwa ebibi by'abantu bo abawonyeewo. Tolemera mu busungu bwo ennaku zonna, naye osanyuka okukwatirwa ekisa.
19
Oliddamu okutusaasira. Olirinnyirira ebibi byaffe, n'obisuula mu buziba bw'ennyanja.
20
Oliraga obwesigwa n'ekisa abantu bo, bazzukulu ba Aburahamu ne Yakobo nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva edda n'edda.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7