bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Micah 4
Micah 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 5 →
1
Mu biseera ebirijja olusozi okuli Essinzizo lwe luliba lusinga zonna obugulumivu. Lulitumbiira okuyisa obusozi bwonna. Ab'omu mawanga mangi balijja nga bakuluggukira ku lwo.
2
Era baligamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, ku Ssinzizo lya Katonda wa Yisirayeli. Alituyigiriza by'ayagala tukole, tulitambulira mu makubo g'atulaga. Kubanga mu Siyooni mwe muva ebyo Mukama by'alagira. Asinziira mu Yerusaalemu okwogera n'abantu be.”
3
Aliramula amawanga ag'amaanyi, agali okumpi n'agali ewala. Ebitala byabwe balibiweesaamu enkumbi, n'amafumu gaabwe baligaweesaamu ebiwabyo. Amawanga tegaalwanaganenga, era tewaabenga nate kutendekebwa mu bya ntalo.
4
Buli muntu anaabeeranga mu mizabbibu gye ne mu mitiini gye, nga tewali amutiisa. Mukama ow'obuyinza ye ayogedde.
5
Abantu aba buli ggwanga bakolera ku biragiro bya balubaale baabwe. Naye ffe tunaakoleranga ku biragiro bya Mukama, Katonda waffe ennaku zonna.
6
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne nkuŋŋaanya wamu abawenyera, ne nkomyawo abo abaagobwa n'abo be nabonereza.
7
Abawenyera ndibafuula bakaawonawo, n'abaali bagobeddwa ne babeera ewala n'ewaabwe, ndibafuula eggwanga ery'amaanyi. Okuva olwo nnaabafugiranga ku Lusozi Siyooni emirembe gyonna.”
8
Naawe Yerusaalemu, omunaala okusinziirwa okulabirira eggwanga, ng'omusumba bw'alabirira eggana lye, oliddamu okuba ekibuga ekikulu eky'obwakabaka nga bwe wali edda.
9
Kale okaabira ki ennyo n'obalagalwa bw'otyo ng'omukazi alumwa okuzaala? Lwa kuba nti tolina kabaka, wadde omuntu akuwa amagezi?
10
Mulumwe nnyo musinde ng'omukazi alumwa okuzaala, mmwe abantu b'omu Siyooni, kubanga kaakano mujja kuva mu kibuga, musiisire ku ttale. Era muligenda e Babilooni. Naye eyo Mukama gy'alibanunulira mu balabe bammwe.
11
Kaakano ab'omu mawanga mangi bakuŋŋaanye okubalwanyisa mmwe, nga bagamba nti: “Yerusaalemu kyonoonebwe! Twagala tulabe nga kizikiridde!”
12
Naye ab'omu mawanga ago tebamanyi Mukama by'alowooza. Tebamanyi ng'abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano, abakubire mu gguuliro.
13
Mukama agamba nti: “Mmwe ab'omu Yerusaalemu, mugende mubonereze abalabe bammwe. Ndibafuula ba maanyi mmwe, ng'ente eya sseddume erina amayembe ag'ekyuma, n'ebinuulo eby'ekikomo. Mulibetenta amawanga mangi, ebyobugagga byabwe ne mubiwongera Nze Mukama, Mukama w'ensi zonna.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7