bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Micah 6
Micah 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 7 →
1
Kale muwulire ebyo Mukama by'agamba nti: “Situka oyombe mu maaso g'ensozi, n'obusozi buwulire ky'ogamba.”
2
“Mmwe emisingi gy'ensi egy'olubeerera, muwulire okwemulugunya kwa Mukama, kubanga Mukama yeemulugunyiza abantu be. Ajja kulumiriza Yisirayeli.”
3
Mukama agamba nti: “Mmwe abantu bange, kiki kye mbakoze? Kiki kye mbakaluubiriddemu? Munziremu.
4
Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbanunula mu buddu. Natuma Musa ne Arooni ne Miriyamu okubakulembera.
5
Naye bantu bange, mujjukire ebyo Balaki, kabaka wa Mowaabu bye yateesa okubakolako, n'ebyo Balamu mutabani wa Bewori bye yamuddamu. Mujjukire ebyabaawo nga muva e Sittimu okutuuka e Gilugaali, mulyoke mumanye bye nkola okubalokola.”
6
Kiki kye nnaaleetera Mukama, Katonda ow'omu ggulu nga nzija okuvuunama mu maaso ge? Nnaamuleetera nnyana ezaakamala omwaka ogumu, nziweeyo zibe ekitambiro ekyokebwa?
7
Mukama anaasiima endiga za sseddume enkumi n'enkumi, oba omuzigo ogukulukuta ng'emigga? Omwana wange omuggulanda gwe mba mpaayo olw'ebibi byange?
8
Mukama atubuulidde ekirungi ky'ayagala. Mukama tatwagaza kirala wabula okukolanga ebituufu, n'okubanga ab'ekisa era n'okumusinzanga Katonda waffe nga tuli beetoowaze.
9
Kya magezi okutya Mukama. Mukama akoowoola ekibuga nti: “Muwulire mmwe abakuŋŋaanira mu kibuga!
10
Mu mayumba g'ababi mulimu ebyobugagga bye baafuna mu bukumpanya. Bakozesa ebipimo ebitali bituufu bye nvumirira.
11
Nnyinza ntya okusonyiwa abantu abakozesa minzaani n'ebipimo ebirala ebitali bituufu?
12
Kubanga abagagga mu mmwe banyigiriza abaavu, era mwenna muli balimba.
13
N'olwekyo ntandise okubabonereza n'okubazikiriza olw'ebibi byammwe.
14
Mulirya, naye temulikkuta. Mulisigala nga mukyalumwa enjala. Mulifiirwa bye mwatereka, ne bye muliwonyaawo ndibizikiririza mu lutalo.
15
Mulisiga, naye temulikungula. Mulisogola emizayiti ne muggyamu omuzigo, naye temuligukozesa. Mulisogola omwenge, naye temuligunywako.
16
Kubanga mugoberedde empisa embi eza Omuri n'ebikolwa eby'ab'ennyumba ya Ahabu, era mukoledde ku magezi gaabwe. Kale mmwe abantu bange ndibazikiriza. Mulinyoomebwa abantu bonna, era mulivumibwa buli wantu.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7