bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Micah 2
Micah 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 3 →
1
Zibasanze abalowoolereza obubi, abateesa eby'obukambwe nga bali mu bitanda byabwe! Bwe bukya ne bakikola, kubanga balina obuyinza okukituukiriza.
2
Beegomba ennimiro, ne baziwamba; beegomba amayumba ne bagatwala; banyakulako omuntu ennyumba ye, ne bantu bannaabwe, obusika bwabwe.
3
Omukama kyava agamba nti: “Nteesa okukolera ennyumba eno akabi, ke mutaasobole kununulamu nsingo zammwe. Temulitambuza malala, kubanga obudde buliba bwa kacwano.
4
Ku olwo balibayisaako olugero, balibakiina mu nnyimba zaabwe ezikungubaga nti: ‘Tusigalidde ddala ttayo, omugabo gw'abantu bange agugabanyizzaamu, laba bw'agunzigyeeko! Ennimiro zaffe laba bw'azigabudde abajeemu.’ ”
5
Mu lukuŋŋaana lw'Omukama kyoliva obulwamu akuwa akalulu osalirweko ennimiro.
6
“Temuyigiriza,” bwe batyo bwe bayigiriza, “temuyigiriza ku bino, okuswala tekulitugwira.”
7
Kino kyandyogeddwa, wattu nnyumba ya Yakobo: nti: “Mwoyo w'Omukama takyagumiikiriza? Y'akola bino?” “Ebigambo byange tebikolera bulungi oyo atambula obutereevu?
8
Mmwe mulumba abantu bange kyenkana ng'omulabe wammwe; aba yeetambulira agage mumukwakkulako omunagiro gwe, aba mu ddembe lye mumuyisa ng'omusibe w'omu lutalo.
9
Abakazi b'abantu bange mubagoba mu nnyumba ze beesiimiramu, n'abaana baabwe ne mubaggyako ekitiibwa kyabwe emirembe gyonna.
10
Musituke, mugende! Wano tewali buwummuliro, kubanga kyayonooneka, kyafaafaagana; kyazikirizibwa obutazzikawo.
11
Singa omuntu ajja ng'ayogera bya mpewo na bulimba nti: ‘Nzija kulanga gye muli evviini n'omwenge,’ oyo ye yandibadde omulanzi w'abantu bano.
12
“Nzija kukukuŋŋaanya wenna, ggwe Yakobo; nzija kuleeta wamu abasigaddewo mu Yisirayeli; nzija kubaleeta wamu ng'endiga mu kisibo, ng'eggana mu ddundiro lyalyo; ebbiina eriwuuma olw'obungi bw'abantu.
13
Abaggulirawo ekkubo n'ayambuka ng'abakulembedde, balifubutuka ne bayita mu mulyango, balifulumira mu gwo. Kabaka waabwe aliyitawo ng'abakulembeddemu, Omukama nga y'abali mu maaso.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7