bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Micah 6
Micah 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 7 →
1
Muwulire Omukama ky'agamba; situka owe empoza yo mu maaso g'ensozi, ka obusozi buwulire eddoboozi lyo.
2
Mmwe ensozi, muwulire Omukama ky'avunaana; tega okutu, ggwe omusingi gw'ensi ogw'edda n'edda, kubanga Omukama alina ky'avunaana abantu be, ajja kuwoza ne Yisirayeli:
3
“Bantu bange, kiki kye nabakola? Nabakooya mu ki? Munnyanukule.
4
Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbanunula mu nnyumba y'obuddu. Ne mbatumira Musa abakulembere, ne Aroni ne Miriyamu.
5
Bantu bange, mujjukire Balaki kabaka wa Mowabu bye yateesa, ne Balaamu mutabani wa Bewori bye yayanukula, n'ebyagwawo okuva e Sittimu okutuuka e Gilugali, mulyoke mutegeere ebikolwa by'Omukama eby'obutuukirivu bwe.”
6
Najja na ki mu maaso g'Omukama, ne nvunnama mu maaso ga Katonda Asukkulumye? Ŋŋende mu maaso ge n'ebitambiro ebyokye? Na buyana bwa mwaka gumu?
7
Omukama anaasiima olukumi lw'endiga ennume, oba akakumi k'emigga gy'omuzigo? Ntambire omuggulanda wange olw'ebibi byange, omwana gwe neezaalidde, olw'emisango gyange?
8
Muntu ggwe, akulaze ekirungi bwe kiba; Omukama kino ky'akusaba, kino kyokka: Okubeera abatuufu, Okwagala ekisa, n'okutambula n'Omukama mu bwetoowaze.
9
Eddoboozi ly'Omukama likoowoola ekibuga, - kya mukisa mulungi okutya erinnya lyo – nti: “Muwulire, mmwe ebika n'ekibiina ky'omu kibuga.
10
Mulowooza nsobola okwerabira obugagga obunyage obuli mu nnyumba embi, n'efa enkendeezeko envumirire?
11
Nsonyiwe omuntu owa minzaani enkyamu, ow'ensawo ejjudde ebipimo eby'obulimba?
12
Kubanga abagagga baamu balyakuzi, n'abantu baayo balimba, ne mu kamwa kaabwe ennimi zaabwe zisalaganya.
13
N'olw'ekyo nno ntandise okukukuba n'okukuzikiriza olw'ebibi byo.
14
Olirya, naye tolikkuta; olubuto lwo lunaasigalanga nga luyala; oliterekanga, naye tolibaako ky'owonyaawo, kubanga ky'oliba owonyezzaawo ndikiwaayo eri ekitala.
15
Olisiga, naye tolikungula; olikamula oliva, naye omuzigo toligusaaba; olisogola emizabbibu, naye tolinywa ku vviini.
16
Mukutte amateeka ga Omuri, n'enkola yonna ey'ennyumba ya Akabu; mugoberedde enteesa zaabwe, kyennaava nkuleka n'ofuuka amatongo, n'abantu bo ne bafuuka ekinyoomebwa; ojja kwetikka ejjoogo ly'amawanga.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7