bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Micah 5
Micah 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 6 →
1
“Naawe Beteleemu Efurata, asembayo obutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe mulinviira ow'okufuga mu Yisirayeli. Ensibuko ye eri eyo mu mirembe egy'edda, mu nnaku eza ddi na ddi.”
2
Olw'okubeera ekyo Omukama alibaabuliramu akabanga, okutuusa oyo ali olubuto lw'alizaala. Olwo abasigaddewo mu baganda be balidda eri Abayisirayeli.
3
Aliyimirira n'alunda eggana lye mu maanyi g'Omukama, mu bukulu bw'erinnya ly'Omukama Katonda we; olwo balituula ntende, kubanga olwo aliba mukulu okutuuka ku nkingi z'ensi.
4
Y'aliba eddembe. Assuri bw'alizinda ensi yaffe, bw'alisambirira embiri zaffe, tulimusitulira abasumba musanvu okumulwanyisa, n'abaami munaana ab'abantu.
5
Balifuga ensi ya Assuri n'ekitala, ensi ya Nimurodi n'ekitala ekisowole. Alitununula mu Bassuri, bw'alijja mu nsi yaffe, bwalirinnya ekigere kye mu kitundu kyaffe.
6
Abaasigalawo mu Yakobo baliba wakati w'abantu enkumu, ng'omusulo oguva ew'Omukama, ng'oluwandaggirize ku bimera ebitalinda muntu, ebitalwa lwa baana ba bantu.
7
Abaasigalawo mu Yakobo baliba wakati mu mawanga, wakati mu bantu abangi; baliba ng'empologoma wakati mu bisolo by'omu bibira, ng'omwana gw'empologoma mu ggana ly'endiga, ogulinnyirira nga bwe gugenda, oguyuzaayuza obulere nga tewakyali asobola kutaasa.
8
Omukono guliwanikibwa ku balabe bo, abakukyawa bonna balikutulwako.
9
“Ku olwo,” Omukama y'agamba, “embalaasi zo ndizizikiriza mu ggwe, n'ensaanyaawo ebigaali byo.
10
Ndizikiriza ebibuga by'ensi yo, ndimenyawo ebigo byo byonna.
11
Eby'obulogo ndibiggya mu mikono gyo, toliddamu kubeera na balaguzi.
12
Ndizikiriza ebifaananyi byo ebya balubaale n'empagi zo emponge ndizikusimbulamu; toliddayo kuvunnamira mikono gyo bye gikoze.
13
Empagi za Asera nzija kuzikuulamu n'ebibuga byo mbizikirize.
14
Ndiwoolera eggwanga mu busungu n'obukambwe ku mawanga agaagaana okuwulira.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7