bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Micah 1
Micah 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 2 →
1
Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Mikka, Omumolasuuti, mu bufuzi bwa Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, byeyalaba nga bikwata ku Samaliya ne ku Yerusaalemi.
2
Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi ne byonna ebirimu, Mukama Katonda abe mujulirwa gye muli, Mukama ng'asinziira mu Yeekaalu ye entukuvu.
3
Kubanga, laba, Mukama ajja ng'ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi.
4
N'ensozi zirisaanuuka wansi we, n'enkonko ziryatikayatika, ng'envumbo bw'esaanuukira mu muliro, ng'amazzi agayiiriddwa okuva ku lusozi.
5
Ebyo byonna biribaawo olw'okwonoona kwa Yakobo era n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? Si Samaliya? Era ekibi eky'ennyumba ya Yuda kiki? Si Yerusaalemi?
6
Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ekifo eky'okusimbamu emizabbibu; era ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo.
7
Ebifaananyi byakyo byonna, birisekulwasekulwa, ne birabo byonna biryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yabikuŋŋaanya nga biva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi.
8
Olwa kino kyendiva nkungubaga, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambuddemu engoye zange era nga ndi bwereere; ndikungubaga ng'emisege, ndinakuwala nga bamaaya.
9
Kubanga ekiwundu kye tekiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi.
10
Temukibuulirako mu Gaasi, temukaaba amaziga n'akatono; mu Besuleyafula mwekulukuunye mu nfuufu.
11
Muveeyo, muyitewo mmwe ababeera mu Safiri, nga muli bwereere, era nga mukwatibbwa ensonyi; mmwe ababeera mu Zanani temuvaayo, ebiwoobe ebya Beswezeeri, birikuggyako ekifo kyabyo eky'okuyimiriramu.
12
Kubanga abo ababeera mu Malosi balindirira n'okwesunga ebirungi; kubanga akabi kasse, nga kava eri Mukama, ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi.
13
Musibe amagaali ku mbalaasi ezisinga embiro, mmwe ababeera mu Lakisi, mmwe mwali entandikwa ye kibi eri omuwala wa Sayuuni, kubanga mu ggwe, mu ggwe mwe mwalabikira okwonoona kwa Isiraeri.
14
Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, n'ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri.
15
Ndireeta gyoli alikuwamba mmwe ababeera mu Malesa, ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka ne ku Adulamu.
16
Mwefuule ab'ekiwalaata, mwemweko enviiri, olw'okukungubagira abaana bammwe ababasanyusa; mwefuule ab'ebiwalaata ng'empungu; kubanga abaana bo balitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7