bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Micah 5
Micah 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 6 →
1
“Kaakano ozingiziddwa n'ekisenge; tuzingiziddwa, n'omuggo bakubye ettama ly'omufuzi wa Isiraeri.”
2
Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omutono mu bika byonna ebya Yuda, mu ggwe mwe muliva aliba gye ndi omufuzi mu Isiraeri; ensibuko ye ya dda na dda, emirembe nga teginnabawo.
3
Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro oyo alumwa okuzaala lw'alizaala; kale baganda be abasigalawo balikomawo eri bannaabwe abaana ba Isiraeri.
4
Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, ne mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era abantu be balibeererawo mu ddembe; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero zonna ez'ensi.
5
Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu ensi y'ewaffe, bw'alitambulira ku ttaka lyaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu (7), n'abakungu munaana (8) ab'ekitiibwa.
6
Nabo balifuga ensi ya Asuli n'ekitala, era ensi ya Nimuloodi n'ekitala ekisowoddwa; era balitulokola eri Omwasuli bw'aliba atuuse mu nsi y'ewaffe, era bw'alitambulira mu nsalo z'ewaffe.
7
Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, era ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo.
8
Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma bw'ebeera mu nsolo ez'omu kibira, oba ng'empologoma ento bw'ebeera mu bisibo by'endiga; bw'eziyitamu, n'ezirinnyirira era n'ezitaagulataagula, so tewali azirokola.
9
Omukono gwo guliyimusibwa eri abalabe bo; n'abakukyawa bonna balizikirira.
10
Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndiggya wakati wo embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;
11
era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna;
12
era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na balaguzi nate.
13
Ndizikiriza ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo.
14
Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo.
15
Era mu busungu n'ekiruyi ndiwalana eggwanga ku mawanga agaatagonda.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7