bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Micah 2
Micah 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 3 →
1
Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku buliri bwabwe! Obudde bwe bukya bongera okubukola, kubanga obuyinza obw'okubukola buli mu mikono gyabwe.
2
N'abo beegomba ennimiro, ne bazinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe.
3
Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggya mu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga ebiro ebyo biriba bibi.
4
Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange, ng'agunzigyako! Agabira abajeemu ennimiro zaffe.
5
Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omuguwa ng'akuba akalulu, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
6
“Temubuuliranga bwe mutyo, bwe batyo si bwe babuulirira; tewabanga abuulira bwatyo nti, tetugenda kuswazibwa.”
7
Kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo nti, Omwoyo gwa Mukama tegukyagumiikiriza? Bino bye bikolwa bye? Ebigambo bye tebikola bulungi oyo atambula n'obugolokofu?
8
Naye musitukidde ku bantu bange ng'abalabe; abo abatayagala kulwana, muggyako ebyambalo abo abali emirembe, n'okuva kw'abo ababayitako mu bwesigwa nga teebagaala kulwana.
9
Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; abaana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna.
10
Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'obutali bulongoofu obuzikiriza n'okuzikiriza okutenkanika.
11
Singa omuntu atambulatambula era n'agenda ayogera eby'obulimba nti, “Nja kukubuulira ku mwenge n'ebitamiiza eby'amaanyi,” oyo ye aliba omubuulizi ow'abantu bano!
12
Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mmwe mwenna Ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya Abaisiraeri abaasigalawo; ndibateeka wamu ng'endiga eziri mu kisibo; ng'ekisibo ekiri mu ddundiro lyakyo, ekibiina ky'abantu abayoogaana.
13
Oyo abatemera ekkubo alibakulemberamu; baliwaguza ne bayita ku luggi olwa wankaaki, era balifulumira omwo. Kabaka waabwe alibayitako n'abakulemberamu, Mukama yennyini ali mu maaso gaabwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7