bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Micah 6
Micah 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 7 →
1
Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera nti, “Yimuka, woza ensonga zo mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo.
2
Muwulire, mmwe ensozi, obutategeragana obuliwo ne Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera, kubanga Mukama alina obutategeragana n'abantu be, era aliwoza ne Isiraeri.”
3
“Mmwe abantu bange, mbakoze ki? Nali mbakooyezza naki? Munziremu!
4
Kubanga nnakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne ntuma Musa ne Alooni ne Miryamu, okubakulembera.
5
Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.”
6
“Najja naki eri Mukama, ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? Mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
7
Mukama alisiima endiga eza sseddume enkumi, oba amafuta agakulukuta ng'emigga? Mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, oba mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange?”
8
Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukolanga eby'obwenkanya, n'okwagalanga, n'ekisa, era n'okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo?
9
Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, era kya magezi agatuukiridde okutya erinnya lyo, “Wulira ggwe ekika era abali awamu ab'ekibuga!”
10
Nnyinza okwerabira ebintu eby'omuwendo eby'obubi, ebikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo?
11
Nnyinza ntya okusonyiwa omuntu akozesa minzaani ey'obubi, n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba?
12
Abagagga baakyo bakambwe, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe.
13
Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; era nkuzisizza olw'ebibi byo.
14
Olirya, so tolikkuta; era olisigala okyalumwa enjala; olijjulula naye tolitwala mirembe, era kyolitwala ndikiwaayo eri ekitala.
15
Olisiga, naye tolikungula; olisogola emizeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola emizabbibu, naye tolinywa ku mwenge.
16
Kubanga mukuumye ebyalagirwa Omuli, era n'ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufuule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo, mulibeera eky'okuduulirwa; nammwe mulibeerako ebivume by'abantu bange.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7