bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Micah 3
Micah 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 4 →
1
Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri! Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya?
2
Mmwe abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; abaggya olususu ku mubiri gw'abantu bange, era n'ennyama okuva ku magumba gaabwe;
3
abalya ennyama ey'abantu bange; ne mubaggyako olususu, era mumenya amagumba gaabwe mu bitundutundu, ne mugatematema ng'ennyama eri mu ssepiki, era ng'ennyama ey'omu ntamu.
4
Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tabaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, kubanga baafula ebikolwa byabwe ebibi.
5
Bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku bannabbi abaakyamya abantu bange; era aboogerera waggulu nti, “Mirembe;” buli lwe baba n'eky'okulya, naye balangirira olutalo ku buli agaana okuteeka emmere mu mimwa gyabwe.
6
N'olwekyo kiriba kiro gye muli, awatali kwolesebwa; era kizikiza gye muli, awatali kutegeezebwa Katonda by'agamba. Enjuba erigwa ku bannabbi abo, era obudde obw'emisana bulibaddugalira.
7
Abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kuva ewa Katonda.
8
Naye nze, nzijjudde amaanyi, n'omwoyo gwa Mukama, era n'obwenkanya n'obuzira, naangirire eri Yakobo okwonoona kwe era ne Isiraeri ebibi bye.
9
Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, mmwe abakyawa obwenkanya, era abakyusa okwenkanankana,
10
abazimba Sayuuni ku kuyiwa omusaayi, ne Yerusaalemi ku bukyamu.
11
Abakulu baakyo basala omusango, nga bafunye enguzi, ne bakabona baakyo bayigiriza nga bamaze kupangisibwa, ne bannabbi baakyo boogera ebya Katonda nga bamaze kuweebwa ssente; so nga beesigama ku Mukama ne boogera nti, “Mukama tali wakati waffe? Tewali kabi kalitutuukako.”
12
N'olwekyo olw'okubeera mmwe Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'ennimiro; Yerusaalemi kirifuuka ntuumu ya bifunfugu. Olusozi okuli ennyumba ya Mukama lulimerako ekibira.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7