bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Micah 4
Micah 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 5 →
1
Naye olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinnywezebwa ng'olusinga ensozi zonna obuwanvu, era luliyimusibwa okusinga obusozi bwonna; era abantu baliluddukirako.
2
Era amawanga mangi agalijja, ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; alyoke atuyigirize amakubo ge, naffe tulitambulira mu go.” Kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka, n'ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3
Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi, n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.
4
Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama ow'eggye ke kakyogedde.
5
Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.
6
Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, nditeeka wamu abawenyera, era ndikuŋŋaanya abo abagobebwa n'abo be nnalabisa ennaku;
7
era abawenyera ndibafuula ekitundu ekyasigalawo, n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna.
8
Era naawe, ggwe omunaala ogw'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, gyoli gyalidda, weewaawo okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka buliddira omuwala wa Yerusaalemi.
9
Lwaki okaaba nnyo? Tewali kabaka gyoli? Akuwa amagezi azikiridde, obubalagaze ne bukukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?
10
Lumwa, era sinda, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babbulooni. Eyo gy'olirokokera; era eyo Mukama gy'alikununulira mu mukono gw'abalabe bo.
11
Ne kaakano amawanga mangi agakuŋŋaana okulwana naawe, agoogera nti, “Ayonooneke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala okulaba nga bituuka ku Sayuuni!”
12
Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga abakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano, alyoke abakubire mu gguuliro lye.
13
Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7