bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Micah 7
Micah 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
1
Zinsanze! Kubanga nfaanana nga bwe bamala okukuŋŋaanya ebibala eby'omu kyeya, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku, tewakyali kirimba eky'okulya; tewali ttiini eryengedde emmeeme yange lye yeegomba.
2
Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu; bonna bateega, okuyiwa omusaayi, buli muntu ayigga muganda we n'ekitimba.
3
Emikono gyabwe ginyikira okukola obubi. Omulangira n'omulamuzi baagala okuweebwa enguzi; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu meeme ye, bwe batyo bwe babirukira awamu.
4
Asinga obulungi ku bo, afaanana ng'omweramannyo, asinga okuba omugolokofu ku bo lukomera olw'amaggwa, olunaku olw'abakuumi baabwe, olw'okubonerezebwako lutuuse, kaakano okutabukatabuka kwabwe kutuuse.
5
Temwesiga muliraanwa wammwe, tobeera na bwesige eri ow'omukwano; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo.
6
Kubanga omwana ow'obulenzi tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; abalabe b'omuntu baba ba mu nnyumba ye.
7
Naye nze nnaatunuuliranga Mukama; nnaalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange anaampuliranga.
8
Tosanyuka ggwe omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi.
9
Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango, alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe.
10
Kale omulabe wange, alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti, “Mukama Katonda wo ali ludda wa?” Amaaso gange galimulabako, kaakano alirinnyirirwa ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
11
Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! Ku lunaku olwo, ensalo zo zirigaziyizibwa.
12
Ku lunaku luli, baliva mu Bwasuli okutuuka e Misiri, era baliva e Misiri okutuuka ku Mugga, okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.
13
Naye ensi eriba kifulukwa, ku lw'abo abagibeeramu, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe.
14
Liisa abantu bo, n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri, baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda.
15
Nga bwe nnakola mu nnaku bwe wava mu nsi ya Misiri, ndimwolesa eby'ekitalo.
16
Amawanga galiraba, galikwatibwa ensonyi n'amaanyi gaabwe gonna, baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, era amatu gaabwe galiziba.
17
Balikomba enfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva mu bwekwekero bwabwe nga bakankana, mu kutya balikyukira Mukama Katonda waffe, era balitekemuka ku lulwo.
18
Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, n'ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? Talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okwagala okwanamaddala.
19
Alikyuka alitusaasira; alirinyirira okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byaffe byonna mu buziba bw'ennyanja.
20
Oliraga Yakobo obwesigwa, n'okwagala okwanamaddala eri Ibulayimu, nga bwe walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7