bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Song of Solomon 1
Song of Solomon 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 2 →
1
Oluyimba Ssemayimba olwa Solomoni.
2
Singa nno annywegedde n'okunywegera kw'akamwa ke! Kubanga okwagala kwo kulungi n'okusinga evviini.
3
Emizigo gyo nga gijjudde obuloosa! Erinnya lyo liri ng'omuzigo oguyiiyiddwa; abawalajjana kyebava bakwagala.
4
Nsika, nkugoberere, tudduke; kabaka annyingizza mu bisenge bye. Ka tusagambize, tusanyukire mu ggwe; tujja kugulumiza okwagala kwo okutusingira n'evviini; batuufu abo abakwagala.
5
Ndi muddugavu, kyokka ndi mubalagavu, mmwe bawala ba Yeruzaalemu, nga weema z'e Kedari, ng'entimbe za Solomoni.
6
Tontunuulira otyo olw'obuddugavu bwange, kubanga enjuba yanzirugaza. Batabani ba nnyabo bannyiigira, ne bampa gwa kukuuma mizabbibu, naye omuzabbibu ogwange nagugayaalirira.
7
Ndagirira, ayi omwoyo gwange gwe gwagala, gy'oliisiza endiga zo, ne gy'oziwummuliza mu ttuntu, nneme kutangatanga kumpi n'amagana ga mikwano gyo.
8
Oba tomanyi, ayi nalulungi mu bakazi, fuluma ogoberere ebisinde by'amagana, olundire obubuzi bwo obuluusi okumpi ne weema z'abalunzi.
9
Ayi kabiite wange, onfaananira embalaasi enkazi mu bigaali bya Faraawo,
10
Amatama go ganyume olw'empeta z'oku matu, n'ensingo yo olw'ebibira by'amayinja ag'omuwendo.
11
Tunaakukolera empeta ez'oku matu eza zaabu, wamu n'enkwanzi eza ffeeza.
12
Kabaka bwe yali agalaamiridde ku mmeeza ye, kalifuuwa wange n'ata akawoowo ke.
13
Muganzi wange ambeerera ng'akasawo ka mirra akasula wakati w'amabeere gange.
14
Muganzi wange ambeerera ng'ekirimba kya kinna okuva mu mizabbibu gy'e Engedi.
15
Ng'oli mulungi kabiite wange! Oli mulungi wamma! Amaaso go, jjiba.
16
Naawe muganzi wange, ng'oli mulungi! Mazima osikiriza. Ekitanda kyaffe kiringa akasaawe k'omuddo.
17
Emirabba gy'ennyumba yaffe gya ntolookyo, eŋŋanzikizo za sipulaasi.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8