bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Song of Solomon 3
Song of Solomon 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 4 →
1
Ekiro kyonna mu kitanda kyange; nanoonya oyo omutima gwange gwe gwagala, namunoonya naye samuzuula.
2
Nzija kusituka neetooloole ekibuga mu nguudo ne mu mbuga zaakyo; nzija kunoonya oyo omutima gwange gwe gwagala. Namunoonya naye samuzuula
3
Abakuumi bansanga nga balawuna mu kibuga. “Mwandabidde ku oyo omutima gwange gwe gwagala?”
4
Nali naakabayisa nti: ne nzuula omutima gwange gwe gwagala. Namunyweza, saamuta kugenda, okutuusa lwe namuyingiza mu nnyumba ya nnyabo, mu maka g'oyo eyanfuna mu lubuto.
5
Bawala ba Yeruzaalemu, mbalayiza n'ennangaazi n'obusirabo obw'ettale: temutaataaganya yadde okuzuukusa omwagalwa, okutuusa w'anaayagalira.
6
Kiki ekyo eri mu ddungu ekyambuka, kiri ng'empagi y'omukka, ekubiddwa akawoowo ka mirra n'obubaani, n'effufugge ly'abatunzi erya buli kika kya kaloosa?
7
Entebe ya Solomoni yiiyo; ewerekerwako abasajja abatabaazi nkaaga, okuva mu bazira ba Yisirayeli.
8
Bonna bambadde ebitala; bonna bakugu mu kutabaala, buli omu n'ekitala ku lukugunyu beetegekedde ebyekango by'ekiro.
9
Kabaka Solomoni yeekolera akadyeri, yakakola mu miti gy'e Lebanoni.
10
Empagi zaako yakola za ffeeza, manvuuli yaako ya zaabu, entebe yaako ya biwempe bya kakobe; munda mwaliriddwa bawala ba Yeruzaalemu n'omutima ogwagala.
11
Mufulume bawala ba Siyoni, mulabe kabaka Solomoni ayambadde engule, eyo nnyina gye yamutikkira ku lunaku lw'embaga ye, ku lunaku lw'essanyu ly'omutima gwe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8