bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Song of Solomon 5
Song of Solomon 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 6 →
1
Nzize mu nnimiro yange, mwannyinaze, omugole wange, nkungudde mirra yange n'obuwoowo bwange; ndidde ekisassalala n'omubisi; nywedde evviini n'amata gange. Mulye, mikwano, munywe; munywe mwekkye, mmwe abaagalana.
2
Neebaka, naye omutima gwange nga gutunula. Wulira muganzi wange akonkona: “Nzigulirawo, mwannyinaze, muganzi wange, ejjiba lyange, omulungi ggero. Omutwe gwange gujjudde omusulo, n'emivumbo gy'enviiri zange, ssuulwe w'ekiro.”
3
Neeyambudde dda omunagiro gwange, ate nziremu nnyambale? Nanaabye dda ebigere byange, ate nziremu mbiddugaze?
4
Muganzi wange yayisa omukono mu kituli ky'omunyolo, n'ankubaganya amameeme.
5
Ne nsituka nzigulirewo muganzi wange; emikono gyange ne gitonnyolokosa mirra n'engalo ne zikulukusa mirra ku musa gw'omunyolo.
6
Naggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange yali agenze ng'abuzeewo. Omutima ne gunzirika, kubanga yali agenze. Nanoonya, naye saamuzuula, Nakowoola, naye teyannyanukula.
7
Abakuumi bansanga nga balawuna mu kibuga; bankuba ne bampulubaza, ne bantwalako omunagiro gwange, abakuumi ba bbugwe abo.
8
Ayi bawala ba Yeruzaalemu, mbalayiza, bwe muzuula muganzi wange, munaamugamba ki? Mumugambe nti: “Ndwadde okwagala.”
9
Omwagalwa wo asinza ki abaagalwa abalala, ayi gwe nalulungi mu bakazi bonna? Omwagalwa wo asinza ki abaagalwa abalala, olyoke otulayize bw'otyo?
10
Muganzi wange atemagana ate mumyufu, asooloobye ku nkumi.
11
Omutwe gwe, zaabu omukuŋŋunte okuzaama, emivumbo gy'enviiri ze gya mayengo, middugavu nga nnamuŋŋoona.
12
Amaaso ge gali ng'amayiba ku mwala gw'amazzi, aganaaziddwa n'amata, masengeke ng'amayinja ag'omuwendo.
13
Amatama ge gali ng'akalimiro k'ebyakaloosa, akawunya akawoowo. Emimwa gye, malanga, gitonnyolokoka mirra.
14
Emikono gye giri nga zaabu omukulungule, omusengekeddwa amayinja g'e Tarusisi. Olubuto lwe lwakolebwa mu ssanga okubikkiddwa n'obuyinja bwa saffiro.
15
Amagulu ge, mpagi za maabo, ensimbe mu ntobo eza zaabu omukuŋŋunte. Endabika ye eri nga Lebanoni, mulondobe ng'entolookyo.
16
Akamwa ke kawoomerevu, yenna mulungi ggero. Bw'atyo bw'ali muganzi wange, ye oyo mukwano gwange, mmwe bawala ba Yeruzaalemu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8