bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Song of Solomon 6
Song of Solomon 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 7 →
1
Muganzi wo agenze wa, ayi nalulungi mu bakazi bonna? Muganzi wo yakutte liri wa, tumukunoonyezeeko?
2
Muganzi wange akkiridde mu nnimiro ye, mu kalimiro k'ebyakaloosa, alundire mu nnimiro, akuŋŋaanye amalanga.
3
Muganzi wange ndi wuwe, naye wange, oyo alundira mu malanga.
4
Oli mubalagavu, kabiite wange, oli nga Tiruza, oli mulungi nga Yeruzaalemu, otiisa ng'eggye eritaze.
5
Nzigyako amaaso go, kubanga gantengeza. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi nga zikkirira okuva e Gileyaadi.
6
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga nga zambuka okuva okunaaba, buli emu ezaala nnongo, mu zo temuli efiisa mwana.
7
Amatama go mu katimba, gali ng'ebiwayi by'ekkomamawanga.
8
Bakaakabaka bandiba nkaaga, abasebeyi kinaana, n'abawala embeerera sibabalika,
9
naye ejjiba lyange, omulungi ggero, teri amufaanana; omwana omu yekka owa nnyina, omuganzi ew'oyo eyamuzaala. Abawala baamulaba ne bamutenda omukisa; bakaakabaka n'abasebeyi ne bamutendereza.
10
Ani ono avaayo nga mmambya, omubalagavu ng'omwezi atangalijja ng'enjuba atiisa ng'eggye eritaze?
11
Naserengeta mu nnimiro y'ebinyeebwa, ndabe ebibaze mu biwonvu, ndabe oba emizabbibu gitojjedde, n'amakomamawanga nga gamulisizza.
12
Nali sinnekkaanya, ebirowoozo byange ne binsikambulayo, ne binteeka mu bigaali by'abantu bange.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8