bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Song of Solomon 4
Song of Solomon 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 5 →
1
Ng'oli mulungi, kabiite wange! Oli mulungi wamma! amaaso go mu katimba ko, jjiba. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi nga zikkirira olusozi lwa Gileyaadi.
2
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakamwebwa, nga zambuka okuva okunaaba; buli emu ezaala nnongo, mu zo temuli efiisa mwana.
3
Emimwa gyo giri ng'enfuvu entwakaavu, n'akamwa ko kawoomerevu; amatama go mu katimba ko gali ng'ebiwayi by'ekkomamawanga.
4
Ensingo yo, eri ng'omunaala gwa Dawudi, ogwazimbibwa n'embu z'amayinja, engabo lukumi ziwanikiddwa omwo, zonna engabo z'abazira.
5
Amabeere go abiri gali ng'obuweewo obubiri, ng'obwana bw'ennangaazi obulongo, obuliira mu malanga.
6
Okutuusa ng'olunaku lweyezeewo, n'ebisiikirize nga bibuzeewo, nzija kugenda ku lusozi lwa mirra eri akasozi k'obubaani.
7
Wenna oli mulungi, mukwano gwange; ku ggwe tekuli bbala.
8
Leka Lebanoni, tugende, mugole wange, leka Lebanoni tugende. Kkirira okuva ku katemyo ka Amana, ku ntikko ya Seniri ne Kerumoni, okuva mu nfo z'empologoma, okuva mu nsozi z'engo.
9
Omutima gwange ogunyaze, mwannyinaze, mugole wange; omutima gwange ogunyaze n'eriiso ly'onsuulizza olumu luti, n'ekkula eriri ku lutembe lwo.
10
Ng'okwagala kwo kusanyusa, mwannyinaze, omugole wange; ng'okwagala kwo kulungi n'okukira evviini, n'akawoowo ka kalifuuwa wo nga kakira wala byonna ebyakaloosa.
11
Emimwa gyo, mugole wange, gitonnyolokoka mubisi gwa njuki; omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo. Akawoowo k'ebyambalo byo kali ng'akawoowo ka Lebanoni.
12
Mwannyinaze, mugole wange, oli nnimiro nsibeko olukomera, oluzzi olukomere, ensulo enzimbire.
13
Emiti gyo kalimiro k'amakomamawanga, n'ebibala amakula; kinna ne narudo;
14
narudo n'amalanga, ebisenke ne budalasiini, n'emiti gyonna egy'obubaani, ko mirra n'ebigaji, na buli kya kawoowo kyonna.
15
Oli nsulo mu nnimiro, luzzi lwa mazzi amalamu, emyala egikulukuta okuva ku Lebanoni.
16
Situka, ggwe empewo y'emambuka; jjangu, ggwe empewo y'emaserengeta, fuuwa ku nnimiro yange, akawoowo kaayo kasaasaane mu nsi. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye alye ku bibala byayo amakula.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8