bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Song of Solomon 8
Song of Solomon 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
1
Singa nno wali mwannyinaze, eyayonka amabeere ga nnyabo. Bwe nandikusanze wabweru nandikunywegedde nga tewali n'omu ansunga.
2
Nandikukutte ne nkutwala mu nnyumba ya nnyabo; eyo eyanjigiriza. Nandikuwadde evviini ey'akawoowo onywe, omubisi gw'amakomamawanga gange.
3
Kkono we wansi w'omutwe gwange, ddyo we ampambaatidde.
4
Bawala ba Yeruzaalemu, mbalayiza: temutaataaganya yadde okuzuukusa omwagalwa, okutuusa w'anaayagalira.
5
Ani oyo ayambuka ng'ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Wansi w'omupeera we nakusisimulira; awo nnyoko we yakufunira munda, awo eyakuzaala we yalumirwa olubuto lwo.
6
Nnyambala ng'akabonero ku mutima gwo, ng'akabonero ku mukono gwo; kubanga okwagala kwa maanyi ng'olumbe; obuggya tebuddirira okufaanana amagombe. Okwaka kwakwo, kwaka kwa muliro, kwaka kwa muliro ogubengeya.
7
Amazzi amangi tegalizikiza kwagala n'emigga tegirikubuutikira; omuntu ne bw'aliwaayo byonna by'alina awaka, afune okwagala, alinyoomebwa bunyoomwebwa.
8
Tulina mwannyinaffe omuto, tannasuna mabeere. Kiki kye tunaakolera mwannyinaffe lw'aliba atuuse okwogerezebwa?
9
Bw'aba kisenge, tujja kukizimbako eminaala egya ffeeza; bw'aba omulyango, tujja kuguwagika n'embaawo ez'entolookyo.
10
Ndi kisenge amabeere gange gali nga minaala; bwe ntyo bwe nfuuse mu maaso ge, ndi ng'aleeta emirembe.
11
Solomoni yalina ennimiro mu Baali-Amoni; yagikwasa abakuumi: buli omu aleete sekeli za ffeeza lukumi olw'ebibala byamu.
12
Ennnimiro yange ey'emizabbibu yange ku bwange; sekeli lukumi ziizo, Solomoni, n'ebikumi bibiri ez'abakuuma ebibala byamu.
13
Ayi asula mu nnimiro, bannange bakutegereza; leka mpulire ku ddoboozi lyo.
14
Muganzi wange, dduka; faanana ng'ennangaazi, oba ng'akaweewo akato, ku nsozi ezijjudde obuwoowo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8