bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 1
Amos 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo Mukama bye yabikkulira Amosi eyali omu ku basumba b'e Tekowa, nga bifa ku Isiraeri mu kiseera kyo bufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu bufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri, ng'ekyabulayo emyaka ebiri okutuuka ku kukankana kw'ensi.
2
Amosi n'agamba nti, “Mukama awulugumira ku Lusozi Sayuuni, era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi. Amalundiro gakala n'omuddo ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri guwotoka.”
3
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ddamasiko, bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza. Baabonyaabonyeezza abantu b'e Gireyaadi nga baabasalasala n'ebyuma.
4
Kale ndiweereza omuliro ku lubiri lwa kabaka waabwe Kazayeeri, era gulyokya n'ebigo bya kabaka Benukadadi.
5
Ndimenya aguuma agasiba enzigi z'ekibuga Ddamasiko, era n'abantu abamu balisalibwako okutuukira ddala mu kiwonvu kye Aveni, n'oyo akwata omuggo gw'obwakabaka ndimumalawo okuva mu nnyumba ya Besi-Edeni. Abantu b'e Busuuli balitwalibwa mu busibe e Kiri, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
6
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Gaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu.
7
Kale ndiweereza omuliro ku bbugwe we kibuga Gaza, ne gwokya amayumba gaakyo.
8
Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudodi ne Asukulooni. Ndibonereza ekibuga Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bwatyo bw'ayogera Mukama Katonda.”
9
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ttuulo bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga baawaayo eggwanga lyonna nga basibe eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'ab'oluganda eyali ekoleddwa.
10
Kale ndiweereza omuliro ku bbugwe we kibuga Ttuulo, gwokye amayumba gaakyo.”
11
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayigganyanga baganda baabwe aba Isiraeri ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma, ne batabusalako.
12
Kale ndiweereza omuliro ku kibuga Temani, era gulyokya amayumba g'e Bozula.”
13
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Amoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi abali embuto ab'e Giriyaadi.
14
Kale ndikuma omuliro mu bbugwe we kibuga Labba, era gulyokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga.
15
Kabaka waabwe alitwalibwa wamu n'abakungu be mu busibe, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9