bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 7
Amos 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 8 →
1
Bino Mukama Katonda bwe yanjolesa: nnalaba ng'ateekateeka ebibinja by'enzige, nga baakamala okusala omuddo gwa kabaka, era nga gutandika okuddamu okumera.
2
Nnalaba ng'enzige zirya buli kantu akaali mu nnimiro abalamu n'enkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? Kubanga mutono.”
3
Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye n'agamba nti, “Tekibeere bwe kityo.”
4
Ne nfuna okwolesebwa okulala okuva eri Mukama Katonda: nnalaba ng'ateekateeka omuliro okubonereza abantu. Gwali gulidde ennyanja eyali wansi w'ensi era nga gutandise okwokya olukalu.
5
Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Ayi Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? Kubanga mutono.”
6
Awo Mukama n'akyusa ekirowoozo kye, n'agamba nti, “era na kino tekijja kubeerawo.”
7
Era nate Mukama nandaga okwolesebwa okulala: nnalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekisenge, ekyazimbibwa nga apimisa omugwa ogugera.
8
Awo Mukama n'ambuuza nti, “Amosi, olaba ki?” Ne muddamu nti, “Omugwa ogugera.” Awo Mukama n'agamba nti, “Nkozesa omugwa ogugera, okulaga abantu bange Isiraeri nti; bali ng'ekisenge ekitateredde. sikyaddamu kukyusa kirowoozo kyange nate, ŋŋenda kubabonereza ddala.”
9
Ebifo ebigulumivu ezzadde we lyasinzizanga bijja kuzikirizibwa, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri bijja kusaanyizibwawo. Era ab'ennyumba ya kabaka Yerobowaamu ndibatta n'ekitala.
10
Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna byayogera.
11
Kubanga Amosi agamba nti, Yerobowaamu alifiira mu lutalo, era aba Isiraeri bajja kutwalibwa nga basibe mubuwaŋŋanguse okuva mu nsi yaabwe.”
12
Awo Amaziya n'agamba Amosi nti, “Ggwe omulabi, genda, ddayo mu Yuda, okolere eyo ogw'obunnabbi, era gy'oba ofuna emmere gy'olya.
13
Naye tolagulira wano e Beseri: kubanga kino kabaka mw'asinziza, era ye Yeekaalu y'eggwanga.”
14
Awo Amosi n'alyoka addamu Amaziya nti, “Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi, wabula nnali musumba era nga ndabirira emiti emisukomooli:
15
Eyo Mukama gye yanzigya ku mulimu ogw'obulunzi, n'aŋŋamba nti, ‘Genda olagule abantu bange aba Isiraeri.’
16
Kale nno kaakano wulira Mukama ky'agamba nti, Tolagula bigambo binenya Isiraeri, toyogera bikosa nnyumba ya Isaaka.
17
Mukama kyava agamba bw'ati nti, ‘Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo balittibwa mu lutalo, ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala, naawe kennyini olifiira mu nsi ey'abatali balongoofu, era Isiraeri bateekwa okugyibwa mu nsi yaabwe batwalibwe mu buwaŋŋanguse.’ ”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9