bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 8
Amos 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 9 →
1
Kuno kwe kwolesebwa kwenafuna okuva eri Mukama Katonda: Yandaga ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya.
2
Mukama n'ambuuza nti, “Amosi, olaba ki?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya.” Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri, sijja kuddamu kukyusa kirowoozo kyange, ngenda kubabonereza.
3
Awo ennyimba ez'omu Yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.”
4
Muwulire kino, mmwe abalinnyirira abatasobola kweyamba, era abaagala okusaanyaawo abaavu abo mu ggwanga lino.
5
Mugamba nti, “Omwezi ogwakaboneka gunaaggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? Ne Ssabbiiti eneggwako ddi, tulyoke tuddemu okutunda? Olwo tulyoke tukendeeze ekipimo ate twongeze emiwendo, tukumpanye nga tukozesa minzaani ezitapima kituufu.
6
Tutunde ebisusunku by'eŋŋaano, tulabe abaavu abatasobola kusasula mabanja, wadde okusasulira omugogo gw'engatto, tubagule bafuuke abaddu baffe.”
7
Mukama, Katonda wa Isiraeri alayidde nti, “Mazima siryerabira ebikolwa byabwe byonna ebibi
8
Ensi erikankana olw'ekyo, era buli muntu agirimu aliwubaala. Ensi eritabanguka n'etumbiira, era n'ekka ng'omugga Kiyira.”
9
“Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama Katonda, “ndiragira enjuba n'egwa mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi emisana.
10
Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga. Ndibamwesaako enviiri zammwe, ne mwambala ebibukutu, ne muba ng'abazadde abakungubagira omwana waabwe gwe babadde balina omu yekka. Olunaku olwo lulibeera lwabubalagaze obungi ennyo.”
11
Ekiseera kijja bw'ayogera Mukama Katonda, lwa lisindika enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ekigambo kya Mukama.
12
Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja Enfu okutuuka ku nnyanja Eya wakati, n'okuva obukiikakkono okutuuka ebuvanjuba. Balidda eruuyi n'eruuyi nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikizuula.
13
“ Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta.
14
Abo abalayira ekibi kya Samaliya nga bagamba nti, ‘katonda wo, ayi Ddaani, mulamu!’ Oba nti, ‘katonda w'e Beeruseba mulamu,’ baligwa so tebaliyimuka nate.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9