bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 2
Amos 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 3 →
1
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu be Mowaabu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'ebagafuula evvu.
2
Kale ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ge Keriyoosi. Abantu be Mowaabu balifiira mu kasasamalo k'olutalo, ng'abatabaazi baleekaana, nga bwe bafuuwa amakkondeere.
3
Ndizikiriza omufuzi we Mowaabu wamu n'abakungu be bonna, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
4
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Yuda bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, era tebakutte biragiro byange. Eby'obulimba bajjajjaabwe bye baagobereranga bibawabizza.
5
Kale ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba g'omu Yerusaalemi.”
6
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu ba Isiraeri bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batunze mu buddu abantu abatalina musango, n'abaavu abatasobola kusasulira wadde omugogo gw'engatto.
7
Balinnyirira abatesobola ng'abalinnyirira enfuufu ey'oku nsi, era bakyamya olugendo olw'abawombeefu. Omulenzi ne kitaawe benda ku muwala omu, bwe batyo ne boonoona erinnya lyange ettukuvu.
8
Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze baggye ku baavu ng'omusingo. Mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanziza.
9
Naye mmwe abantu bange kwali kubalumirwa, nze okusaanyaawo Abamoli nga mulaba, abaali abawanvu ng'emivule, era ab'amaanyi ng'emyera. Ebyabwe byonna nabizikiriza okuva ku bibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10
Nnabaggya mu nsi y'e Misiri ne mbakulembera emyaka ana mu ddungu, ne ndyoka mbawa ensi y'Abamoli ebe yammwe.
11
Nnalonda abamu ku batabani bammwe okuba bannabbi, n'abamu ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, mmwe abaana ba Isiraeri? Bw'ayogera Mukama.
12
Naye mmwe mwadda mu kuwa Abawonge omwenge okunywa, ne muwa bannabbi ebiragiro nga mubagamba nti, ‘Temulagula.’
13
Kale kaakano nja kubanyigiriza ku ttaka, mube ng'ekigaali ekyetisse ebinywa by'eŋŋaano.
14
Amaanyi agokudduka galibula ow'embiro, ab'amaanyi baliggwaamu endasi, n'omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15
Abalasi b'obusaale tebaliguma kuyimirirawo, omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talisobola kuwonya bulamu bwe.
16
Ku lunaku olwo, abalwanyi nnamige balisuula eby'okulwanyisa byabwe ne badduka bukunya, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9