bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 3
Amos 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 4 →
1
Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, eggwanga lyonna lye yaggya mu nsi ey'e Misiri, agamba nti,
2
“Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi ne mbalonda, kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna.
3
Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye?
4
Empologoma ewulugumira mu kibira nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga terina ky'ekutte?
5
Ekinyonyi kikwatibwa mu mutego nga tebakiteze kakunizo? Omutego gumasuka nga tewali kigumasudde?
6
Bafuuwa ekkondeere ly'olutalo mu kibuga, abantu ne batatya? Akabi kagwa mu kibuga, Mukama nga si ya kaleese?
7
Mazima Mukama Katonda taliiko ky'akola wabula ng'amaze okukibikkulira abaweereza be, bannabbi.
8
Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde, ani ataawe bubaka bwe?”
9
Mulangirire mu mbiri z'omu Asudodi n'ez'omu Misiri, mugambe nti, “Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe obujagalalo obuli eyo, n'ejjogo eririyo.”
10
Mukama agamba bwati, “Abantu abo tebamanyi kukolera ku mazima: bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebinyage n'ebibbe.”
11
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, “Omulabe kyaliva yeetooloola ensi yaabwe, n'amenya ebigo byabwe, n'anyaga eby'omu mayumba gaabwe.”
12
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Ng'omusumba bw'asuuzaako amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu eky'endiga eriiriddwa empologoma, bwe batyo n'abaana ba Isiraeri ababeera mu Samaliya bwe baliwonawo abatono ku abo kaakati abagandaalira mu buliri obw'omuwendo omungi.”
13
“Muwulire era mulabule ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye.
14
Ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndisaanyaawo n'ebyoto bye e Beseri, n'amayembe g'ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi.
15
Ndisaanyaawo amayumba ge babeeramu mu budde obw'obutiti, n'amayumba ge babeeramu mu budde obw'ekyeya. Amayumba agatimbiddwa amasanga galisaanawo n'amayumba amanene galizikirizibwa, bw'ayogera Mukama.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9