bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 4
Amos 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 5 →
1
“Muwulire ekigambo kino, mmwe abakazi b'e Samaliya, abagezze ng'ente ez'e Basani, abajooga abaavu, abakamula abeetaaga, abagamba ba bbaabwe nti, ‘Muleete omwenge tunywe.’
2
Mukama Katonda nga bwali omutuukirivu alayidde nti, Laba, ennaku zijja lwe balibatungamu amalobo, ne babaggyawo mwenna, nga babasika ng'ebyennyanja.
3
Muliwalulwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bisenge, musuulibwe ku Kalumooni, bw'ayogera Mukama.”
4
“Mujje e Beseri mukole ebibi, mugende e Girugaali mwongere okwonoona. Muleete ssaddaaka zammwe buli nkya, n'ebitundu byammwe eby'ekkumi buli nnaku essatu.
5
Muweeyo ssaddaaka ey'okwebaza ey'emigaati egizimbulukusiddwa, mulangirire ebiweebwayo bye muwaayo nga mweyagalidde. Kubanga ekyo kye mwenyumiririzamu, ayi mmwe abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.”
6
“Nabaleetera enjala mu bibuga byammwe byonna, emmere n'ebula mu mayumba gammwe gonna, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
7
“Naziyiza enkuba okutonnya ng'ekyabulayo emyezi esatu okutuuka ku makungula: Natonnyesa enkuba ku kibuga ekimu, ne ngiziyiza okutonnya mu kibuga ekirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, ate mu ndala n'etatonnya, ebirime ne biwotoka ne bikala.
8
Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne bagenda mu kirala okunywa amazzi, naye ne batasangayo gamala kunywa kukuta. Naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
9
“Ebirime byammwe na bigengewaza ne mbitekamu n'obukuku. Enzige nazo ne zirya ensuku zammwe ez'emizabbibu, emitiini gyammwe n'emizeyituuni gyammwe. Naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
10
“Nabasindikira kawumpuli nga gwe n'asindika mu b'e Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n'ekitala, n'embalaasi zammwe ne zinyagibwa. Najjuza ennyindo zammwe ekivundu ky'emirambo mu nsiisira zammwe, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
11
“Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nnakola ab'e Sodomu ne Ggomola. mmwe abaawonawo ne muba ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro, naye era temwadda gye ndi, bw'ayogera Mukama.”
12
“Kyendiva nkubonereza, ayi Isiraeri: N'olwekyo weeteeketeeke okunsisinkana gwe Isiraeri.”
13
Kubanga oyo abakolako ye Katonda eyatonda ensozi, eyatonda embuyaga, era ategeera omuntu by'alowooza. Yafuula enkya okubeera ekiro, era atambulira ku ntikko z'ensozi. Mukama Katonda ow'eggye lye linnya lye.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9