bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 6
Amos 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 7 →
1
“Zibasanze mmwe abali obulungi mu Sayuuni nammwe abatalina kye batya ku lusozi lw'e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga gonna obukulu, abantu gye bajja okunoonya obuyambi.
2
Mugende mutunuulire ekibuga Kalune mulabe; muveeyo eyo ate mugende mu kibuga ekikulu Kamasi; ate muserengete e Gaasi ekibuga ky'Abafirisuuti. Ebibuga ebyo bisinga obwakabaka buno bwombi obulungi? oba bisinga ensi yammwe obugazi?
3
Mugaanyi okukkiriza nti olunaku olubi lunaatera okutuuka, kyokka bye mukola byongera kulusembeza kumpi.
4
Zibasanze mmwe abagalamira ku bitanda eby'amasanga, ne mulya endiga ento, n'ennyana ez'omu bisibo byammwe.
5
Muyimba ennyimba ezitaliimu ku ddoboozi ery'ennanga, era mweyiiyiza ebivuga nga Dawudi bwe yakola.
6
Munywera omwenge mu mpaawo, era mwesiiga omuzigo ogusinga obulungi, naye ne mutanakuwalira kuzikirira kwa Isiraeri.
7
Kale mmwe munaasooka okugenda mu buwanganguse, embaga n'ebinyumu byammwe, mmwe abagayaavu birikoma.”
8
Mukama, Katonda ow'eggye, alayidde nti, “ Nkyawa amalala ga Yakobo, ne ntamwa amayumba gaabwe, kyendiva mpaayo ekibuga kyabwe ne byonna ebikirimu eri omulabe waabwe.”
9
Awo olulituuka abantu kkumi (10) bwe balisigala mu nnyumba emu, balifa.
10
Ow'oluganda lw'omufu, era ateekwa okumuziika, bw'alifulumya omulambo mu nnyumba, alibuuza oyo akyasigadde mu nnyumba nti, “Wakyaliwo omulala ali naawe?” Oli alimuddamu nti, “Nedda.” Ono alimugamba nti, “Sirika, kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama.”
11
Kubanga, Mukama bw'aliragira, ennyumba ennene n'entono zirimenyebwamenyebwa.
12
Embalaasi ziriddukira ku lwazi? Omuntu alimisa ente ku nnyanja? Naye mmwe, obwenkanya mubufudde butwa, n'ekituufu mukifudde kikyamu.
13
Mwenyumiriza nti muli ba maanyi kubanga mwawamba ekibuga Lodebari.
14
Laba, Mukama Katonda ow'eggye agamba nti, “Mmwe abantu ba Isiraeri, ŋŋenda kubasindikira eggwanga okuwamba ensi yammwe, era balibabonyaabonya okuviira ddala awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9