bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Amos 5
Amos 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 6 →
1
Muwulire ebigambo bino eby'ennaku bye nnyimba okubakungubagira, ayi ennyumba ya Isiraeri.
2
“Isiraeri omuwala embeerera agudde, taliddayo kuyimuka. Agudde wansi mu nsi ye, talina wa kumuyimusa.”
3
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ky'omu Isiraeri ekyasindikanga abalwanyi olukumi (1,000) mu lutalo kirisigazaawo kikumi (100), n'ekyo ekyasindikanga ekikumi (100) kirisigazaawo kkumi (10) bokka.”
4
Bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti, “Munnoonye, kale munaabanga balamu
5
Naye temugenda Beseri kusinza, so temuyingiranga mu Girugaali, oba okunnonyeza e Beeruseba: kubanga abantu be Girugaali balitwalibwa mu busibe, ne Beseri kirisanyizibwawo ddala.”
6
Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu, aleme okubuubuuka ng'omuliro ku nnyumba ya Yusufu, ne gugyokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7
Zibasanze mmwe, abatasala mazima, ne musuula wansi obutuukirivu,
8
munoonye oyo eyakola emmunyeenye zi kakaaga n'entungalugoye, afuula ekizikiza okuba omusana, afuula obudde obw'emisana ne bufuuka ekiro. Ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Mukama lye linnya lye.
9
Mu bwangu obwe kitalo, era awatali kulabula azikiriza ab'amaanyi wamu n'ebigo byabwe.
10
Mukyawa oyo alamula mu bwenkanya, era mutamwa oyo ayogera amazima.
11
Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja amateme ge muzimbye temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye temulinywa ku mwenge gwagyo.
12
Mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'emisango gye muzzizza bwe gyenkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era temusala misango gy'abaavu mu bwenkanya.
13
Omugezi kyava asirika mu biseera ebifaanana bwe biti, kubanga biseera bibi.
14
Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabeera abalamu, olwo, Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe.
15
Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, musalenga amazima mu mbuga zammwe, oboolyawo Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo.
16
N'olwekyo Mukama Katonda ow'eggye, Mukama, agamba bw'ati, “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era baligenda baaziirana mu makubo gonna nti, ‘Woowe, woowe!’ Baliyita omulimi okukuba ebiwoobe awamu n'abo abapangisibwa okukungubagira abafu.
17
Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nsuku zonna ez'emizabbibu, kubanga njija okubabonereza mmwe,” bw'ayogera Mukama.
18
Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? Kizikiza so si musana.
19
Olunaku lulibeera ng'omusajja adduka empologoma ate n'asisinkana eddubu, oba ng'omuntu bw'ayingira mu nnyumba n'akwata ku kisenge omusota ne gumubojja
20
Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, luliba lwa kizikiza ekikute omutali katangaala konna.
21
“Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu.
22
Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, sijja kubikkiriza, era sisanyukira nsolo zammwe ezassava ze muwaayo.
23
Munzigyeeko oluyoogaano olw'ennyimba zammwe, sijja kuwuliriza maloboozi ga nnanga zammwe.
24
Kale muleke amazima gakulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogujjula ne gubooga.
25
Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ddungu mu myaka ana (40) gyonna?
26
Naye kaakano nga bwe musinza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sikusi, ne Kiyuni, n'emmunyeenye nga be ba katonda bammwe, ebyo bye muba mutwala.
27
N'olwekyo nja kubatwala mu busibe eyo okuyisa e Ddamasiko.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama. Erinnya lye Katonda ow'eggye.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9