bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 1
Esther 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
1
Awo olwatuuka ku mirembe gya Akaswero, Akaswero oyo ye yali afuga obwakabaka okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127)
2
Awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatuula ku ntebe y'obwakabaka bwe eyali mu lubiri lw'e olwali mu kibuga ekikulu Susani,
3
mu mwaka ogwokusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; n'abakulu b'amaggye ag'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge,
4
kabaka n'ayoleseza ennaku nnyingi obugagga obw'obwakabaka bwe n'ekitiibwa n'ettendo ery'obukulu bwe obutasingika, ennaku kikumi mu kinaana (180).
5
Awo ennaku ezo bwe zaggwaako, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali awo mu lubiri lw'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olwali mu maaso g'ennimiro z'olubiri lwa kabaka;
6
waaliwo ebitimbiddwa eby'olugoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga zisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira, ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu.
7
Eby'okunywa byagabulirwa mu binywerwamu ebya zaabu, ebinywerwamu ebyo byali byanjawulo nga tebifaanana, n'omwenge gwa kabaka gwali mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
8
N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza, kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala.
9
Ne Vasuti kaddulubaale naye n'afumbira abakazi embaga mu nnyumba ya kabaka, Akaswero.
10
Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani, Bizusa, Kalubona, Bigusa, Abagusa, Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka,
11
okuleeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka ayolese eri amawanga n'abakungu obulungi bwe; kubanga kaddulubaale yali mulungi okutunuulira.
12
Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja nga kabaka bwe yalagira nga amutuumira abalaawe, kabaka kye yava asunguwala nnyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye.
13
Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka okwebuuza ku bakugu mu by'amateeka n'emisango.
14
Abasajja abali okumpi naye baali: Kalusena, Sesali, Adumasa, Talusiisi, Meresi, Malusema ne Memukani, abakungu omusanvu (7) ab'e Buperusi n'e Bumeedi, abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddiriranga.
15
“Okusinziira ku mateeka tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti, kubanga takoze ekyo kabaka Akaswero ky'amulagidde; bwamutumidde abalaawe?”
16
Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti, “Vasuti kaddulubaale tanyoomye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero.
17
Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti, ‘Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja.’
18
Awo ku lunaku luno abakyala ab'e Buperusi n'e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka. Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu.
19
Kabaka bw'anaasiima bw'atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireme okuwaanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka abuwe omulala amusinga obulungi.
20
Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, kubanga bunene, kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato.”
21
Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyali;
22
kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka, mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10