bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 2
Esther 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, n'alyoka ajjukira Vasuti n'ekyo kye yakola, n'ekyo ekyali kimulangiriddwako.
2
Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti, “Banoonyeze kabaka abawala abato abalungi abatamanyi musajja.
3
Era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, bakwasibwe Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okwerongoosa bibaweebwe.
4
Awo omuwala kabaka gw'alisiima abe Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; era n'akola bw'atyo.
5
Waaliwo Omuyudaaya mu Susani mu lubiri, erinnya lye Moluddekaayi mutabani wa Yayiri, Yayiri mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini;
6
eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni gwe yatwala.
7
Moluddekaayi yalera Kadassa, era ayitibwa Eseza muwala wa kitaawe omuto, kubanga teyalina kitaawe newakubadde nnyina, era omuwala oyo yali mulungi nnyo; awo nnyina ne kitaawe bwe baafa, Moluddekaayi n'amutwala okuba omwana we ye.
8
Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri ne baakwasibwa Kegayi, awo Eseza naye n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka nnaakwasibwa Kegayi omukuumi w'abakazi.
9
Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa gyali; n'amuyisa bulungi; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okwerongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu baagwanira okuweebwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka, n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi.
10
Eseza yali tategeezanga abantu be bwe baali newakubadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amukuutidde obutakyogera.
11
Era Moluddekaayi n'ayitanga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era n'ebimukwatako.
12
Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwatuuka okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ebyetaagisa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri (12), kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaali bwe zityo, emyezi mukaaga baasimulwanga amafuta ag'omugavu, n'emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu ebirala eby'okulongoosa abakazi.
13
Kale bw'atyo omuwala bwe yagendanga eri kabaka, kyonna kye yayagalanga y'akiweebwanga okugenda nakyo ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka.
14
Yagendanga akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi eyokubiri nnaakwasibwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana; teyaddangayo nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya.
15
Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto, gwe yali atwalanga omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira.
16
Awo Eseza n'atwalibwa eri kabaka Akaswero mu nnyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi Tebesi mu mwaka ogw'omusanvu ogw'okufuga kwe.
17
Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna, n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula Nnaabagereka mu kifo kya Vasuti.
18
Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyiwa emisolo, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
19
Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogwokubiri, Moluddekaayi yali atudde mu mulyango gwa kabaka.
20
Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddekaayi bwe yamukuutira; kubanga Eseza yaagondera ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera.
21
Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng'atudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okutemula kabaka Akaswero.
22
Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moluddekaayi n'akibuulira Eseza kaddulubaale; Eseza n'abuulira kabaka mu linnya lya Moluddekaayi.
23
Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabikanga kyali kituufu, bombi ne bawanikibwa ku muti. Awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebibaawo ebikulu mu maaso ga kabaka.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10