bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 6
Esther 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
1
Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okumuleetera ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebikulu, ne babisomera mu maaso ga kabaka.
2
Awo ne basanga nga kyawandiikibwa nga Moluddekaayi bwe yabuulira kabaka olukwe olwakolebwa Bigusani ne Teresi, ababiri ku balaawe ba kabaka abamu ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okutemula kabaka Akaswero.
3
Awo kabaka n'abuuza nti, “Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo?” Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti, “Tewali kintu na kimu kyali kimuweereddwa.”
4
Awo kabaka n'abuuza nti, “Ani ali mu luggya?” Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw'ebweru olw'oku nnyumba ya kabaka, ng'azze okusaba kabaka amukkirize okuwanika Moluddekaayi ku kitindiro kye yali amusimbidde.
5
Awo abaddu ba kabaka ne bamugamba nti, “Laba, Kamani ayimiridde mu luggya.” Kabaka n'ayogera nti, “Ayingire.”
6
Awo Kamani n'ayingira. Kabaka n'amugamba nti, “Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa anaakolerwa ki?” Awo Kamani n'ayogera mu mutima gwe nti, “Ani kabaka gwe yandisanyukidde okumussaamu ekitiibwa okusinga nze?”
7
Awo Kamani n'agamba kabaka nti, “Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa,
8
baleete ebyambalo by'obwakabaka, kabaka by'ayambala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala eri etikkirwako engule ey'obwakabaka ku mutwe gwayo.
9
Era bakwase ebyambalo n'embalaasi omu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze ebyambalo ebyo omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti, ‘Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.’ ”
10
Awo kabaka n'agamba Kamani nti, “Yanguwa oddire ebyambalo n'embalaasi nga bw'oyogedde, okolere ddala bw'otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka, waleme okubulako n'ekimu ku ebyo byonna by'oyogedde.”
11
Awo Kamani n'addira ebyambalo n'embalaasi, n'ayambaza Moluddekaayi, n'amwebagaza okuyita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maaso ge nti, “Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.”
12
Awo Moluddekaayi n'akomawo ku mulyango gwa kabaka. Naye Kamani n'ayanguwa n'agenda ewuwe, ng'anakuwadde era ng'abisse ku mutwe gwe.
13
Awo Kamani n'abuulira Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebyamubaddeko. Awo abasajja be abagezi ne Zeresi mukazi we ne bamugamba nti, “Moluddekaayi nga bw'otandise okutoowazibwa mu maaso ge, oba nga wa ku zzadde lya Bayudaaya, tojja kumusinga, naawe tolirema kugwa mu maaso ge.”
14
Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba kabaka ne bajja, ne banguwa okutwala Kamani ku embaga Eseza gye yali afumbye.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10