bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Esther 8
Esther 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
1
Awo ku lunaku olwo kabaka Akaswero n'awa Eseza kaddulubaale ennyumba ya Kamani omulabe w'Abayudaaya. Awo Moluddekaayi n'ajja mu maaso ga kabaka; kubanga Eseza yali amubuulidde bwamuyita.
2
Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'aggye ku Kamani n'agiwa Moluddekaayi. Awo Eseza n'alonda Moluddekaayi okuba omukulu w'ennyumba ya Kamani.
3
Awo Eseza n'ayogera nate olwokubiri mu maaso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akaaba amaziga okuggyawo obubi bwonna Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe yali asalidde Abayudaaya.
4
Awo kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu. Awo Eseza n'asituka n'ayimirira mu maaso ga kabaka.
5
N'ayogera nti, “Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu maaso ge, n'ekigambo ekyo bw'olabanga kituufu mu maaso go, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike ekirangiriro okumenyawo ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yawandiika, okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka.
6
Kubanga nnyinza ntya okugumiikiriza okutunuulira obubi nga bujja ku bantu bange? Oba nnyinza ntya okugumiikiriza okutunuulira baganda bange nga babazikiriza?”
7
Awo kabaka Akaswero n'agamba Nnaabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Laba, mpadde Eseza ennyumba ya Kamani, naye bamuwanise ku kitindiro, kubanga yateeka omukono gwe ku Bayudaaya.
8
Era muwandiikire n'Abayudaaya, nga bwe musiima, mu linnya lya kabaka, mugisseeko akabonero n'empeta ya kabaka kubanga ekiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya kabaka era ekiteekeddwako akabonero n'empeta ya kabaka, tewali muntu ayinza okukikyusa.”
9
Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi gwa Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'abiri mu ssatu (23) era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127), eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali.
10
Era n'awandiika mu linnya lya kabaka Akaswero n'agissaako akabonero n'empeta ya kabaka n'aweereza ebbaluwa ezitwalibwa ababaka abeebagala embalaasi, abeebagadde ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka, ebyazaalibwa mu bisibo bya kabaka.
11
Era mu ezo kabaka n'alagira Abayudaaya abaali mu buli kibuga okukuŋŋaana, basobole okutaasa obulamu bwabwe, era basobole okuzikiriza, okutta, n'okumalawo obuyinza bwonna obw'abantu n'essaza abaagala okubalumba, abaana baabwe abato ne bakazi baabwe, n'okutwala ebintu byabwe okuba omunyago.
12
Ekiragiro ekyo kyali kya kukola ku lunaku lumu mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi gwa Adali.
13
Awo ne balaalika amawanga gonna ebyaggibwa mu kiwandiiko, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunaku olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.
14
Awo ababaka abeebagala ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka ne bagenda, ekiragiro kya kabaka nga kibakubiriza era nga kibanguya; awo ekiragiro ne kirangirirwa mu kibuga ekikulu lw'e Susani.
15
Awo Moluddekaayi n'afuluma mu maaso ga kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikkidde engule ennene eya zaabu, era ng'ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu, awo abantu mu kibuga Susani ne bakuba emizira, ne boogerera waggulu olw'essanyu.
16
Awo Abayudaaya ne baba n'ekitangaala, ne basanyuka, ne bajaguza, era ne baba n'ekitiibwa.
17
Awo mu buli ssaza ne mu buli kibuga, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga, Abayudaaya ne baba n'essanyu n'okujaguza, embaga n'olunaku olulungi. Kale bangi ab'omu mawanga ag'omu nsi ne bafuuka Abayudaaya; kubanga entiisa ey'Abayudaaya yali ebaguddeko.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10